BANNAYUGANDA bonna bakubiriziddwa okukola kyonna ekisoboka okutangira abantu okufuna endwadde y’ekikulukuto ‘Fisitula’ kubanga omukyala singa agifuna, bwatayambibwa mu ngeri eyetaagisa aba tasobola kusigala kyekimu mu banne.
Bino bibadde mu lipoota eyakoleddwa aba Terrewode nga bano basinga kukola gwa kujanjaba abakyala abalina endwadde eno mu ggwanga mwebakizuulidde nti obutambanguko mu maka kye kimu ki bivaako endwadde eno okweyongera mu bakyala bwebatyo ne basaba buli omu okukola kyonna ky’asobola okugitangira.

Dr. Geofrey Mugisha Bukombi ng'ayogera ku fisitula. Okuva ku kkono ye Grace Nakirijja Lwanga ne Alice Emasu Seruyange
Akulira Terrewode Alice Emasu Sseruyange asinzidde mu kwanjula lipoota eno e Kira mu disitulikiti ye Wakiso n’ategeeza nti newankubadde ekisinga okuvaako endwadde ya fisitula ye mwana okuyuza akawago ka maama we ng’azaalibwa olwo omusulo negutandika okumuyitamu, naye n’obutabanguko mu maka bukola kya maanyi mu kuleeta obulabe buno.
Agambye omukyala eyakubiddwa bba ekiro ng’ali lubuto , ekiseera ky’okuzaala nebwekituuka, akaluubirirwa okusaba ssente oba okumugamba amutwale mu ddwaliro okukakkana ng’ekiseera eky’okuzaala kituuse nga tali mu bakugi ekivaamu okufuna endwadde y’ekikulukuto.
Asabye abasajja bulijjo okuleka bakyala babwe okukola basobole okubeera ne ssente mu nsawo nga bwebatuuka okugenda mu ddwaliro, omwami nebwaba taliiwo aba asobola okwetwala mu ddwaliro basobole okusomesebwa engeri y’okutangiramu embeera eno.
Ate Dr. Goofry Mugisha Bukombi nga yeyakiikiridde kamisona avunaanyizibwa ku dwadde ezitaasigibwa mu minisitule y’eby’obulamu yalaze ebivaako endwadde y’ekikulukuto okukwata omukyala omuli omwana okufuna olubuto nga tanneetuuka, okulwawo okugenda mu ddwaliro okuzaala ng’ekiseera kituuse, okukolwako abantu abatali bakugu mu kuzaala n’ebirala ebigwa mu kkowe eryo era n’asaba abakwatibwako okwewala embeera eno.

Abamu ku baabaddewo nga aba TERREWODE batongoza lipoota ku fisitula. Okuva ku kkono ye Bernadette Nakimbugwe, Grace Nakirijja, Dr. Godfrey Alia, Alice Emasu, Dr. Geofrey Mugisha ne Dr. Odeth Kusiima.
Grace Nakirijja Lwanga agambye nti omukyala ajanjabiddwa fisitula, alina okumala wakiri ebbanga lya myezi esatu nga teyetaba mu nsonga za mukwano kyokka ate nga newaba azeemu okufuna olubuto, aba talina kulinda bisa kumuluma wabula ng’alina kufuna lunaku n’omusawo we alongoosebwe.
Dr. Odeth Kusiima omu ku bavunaanyizibwa ku kutangira endwadde ya fisitula mu minisitule y’eby’obulamu yasabye abazadde okubuulirira abaana babwe ku ndwadde ya fisitula ate n’okwewala okuzaalibwa mu bantu abatali bakugu kubanga ekirwadde kino kiba kijja kweyongera.
Asabye abakyala bonna abalina ekirwadde kino okwettabira amalwaliro okufuna obujanjabi ate n’okwogera okugenda mu ddwaliro okuntwa eddagala nga bali mbuto.