Amawulire

Poliisi esuuzizza ababbi b'Ente 68 ze babadde bagenda okusala ku Easter

Poliisi ezingizza abasajja ababadde basazeeko ebiraalo ne babba Ente 68, nga bateekateeka kuziguza bakinjaagi, zisalibwe  ku lunaku lw'Amazuukira ga Kulisito.

Ezimu ku nte ezikwatiddwa
By: Stuart Yiga, Journalists @New Vision
Poliisi ezingizza abasajja ababadde basazeeko ebiraalo ne babba Ente 68, nga bateekateeka kuziguza bakinjaagi, zisalibwe  ku lunaku lw'Amazuukira ga Kulisito.
 
Kyaddiridde okutemezebwaako abatuuze b'oku kyalo Kigumbya, mu ggombolola y'e Kamira mu disitulikiti y'e Luweero.
Ente ezigambibwa okubbibwa

Ente ezigambibwa okubbibwa

Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Savannah, Sam Twineamazima, yategeezezza Bukedde nti, ekitogole kyabwe ekikessi nga bali wamu n'aba Flying Squad baakutte abasajja basatu abamu ku abo, abaabadde mu minsoni y'obubbi buno, ku Lwokubiri, March, 31, 2026, era ne babatwala we baabadde bazikwese.
Okunoonyereza okukoleddwa kulaga nti, omu ku baakwattiddwa, Fred Kayima mukozi ku ffaamu awabbiddwa Ente.
Mu balala abaakwattiddwa kuliko;Muzafalu Kasenge, 25, omuvuzi wa bodaboda, ne
Henry Ssemwanga, 24, nga bombi batuuze ku kyalo Kabunyata, mu ttawuni kanso y'e Kamira.
Poliisi yategeezezza nti, abakwattiddwa be bamu ku kabinja k'ababbi b'Ente lukulwe be baludde nga balondoola okumala ekiseera e Luweero, Nakaseke ne Nakasongola.
Ezimu ku Nte ezikwatiddwa

Ezimu ku Nte ezikwatiddwa

Twineamazima, yagaseeko nti abaserikale baabwe baakugenda mu maaso n'ebikwekweto okulaba ng'ebisolo by'abatuuze tebibbibwa naddala mu biseera by'ennaku enkulu ze tuyingidde.
Okusinziira ku lipoota ya Poliisi empya eyafulumiziddwa ku Mmande ya wiiki eno, emisango gy'obubbi bw'bisolo omuli n'Ente egyaloopebwa ku poliisi mu ggwanga lyonna gyali, 7208, mu mwaka 2025, ssonga mu mwaka gwa 2024, emisango gyali, 7,222.
Poliisi egamba nti, omuwendo gw'ebisolo ebyabbibwa mu 2025, gwali, 9,381, nga ku bino, baazuulako 4,347, ate endala, 5,034, zaabulako amayitire.