Omwana ow'emyaka 15 , pikipiki emutomedde n'afa nga yaakatuusibwa mu ddwaliro. Omugoba wa pikipiki, naye aweereddwa ekitanda ng'ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw'okufuna ebisago eby’amaanyi ku mutwe.
Akabenje, kabadde Bulamba cell mu kabuga k'e Namayingo, pikipiki etannamanyika nnamba, bw'etomedde Edwin Sanyu 15 ow'e Budidi cell n'afiira mu ddwaaliro lya Shalom Medical Center .
Omuvuzi wa pikipiki eno Vincent Kabende, naye afunye ebisago eby’amaanyi n'aweebwa ekitanda mu ddwaaliro lya Victory Medical Center.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti abantu abatannamanyika, pikipiki bagiggyeewo ne bagikweka era ng'omuyiggo okugizuula gukolebwa.
Agasseeko nti akabenje, kaaliba nga kavudde ku ndiima n'okuvugisa ekimama.