NABBI asibiddwa emyaka 30 lwa kusobya ku ndiga n’agizaalamu abalongo ate n’agisiiga akawuka ka siriimu ng’ate yamuganza wamu ne nnyina ssaako muganda we.
Omulamuzi Margaret Mutonyi yakaliga Kimera emyaka 40 oluvannyuma lwa Kimera okukkiriza omusango kyokka omulamuzi yazuula nga Kimera yattattana ekitiibwa, obwesige,n’obubuvunaanyizibwa bw’omwana (amannya gasirikiddwa) bye yamulinamu mu kkanisa nnyina gye yamutwala okumusumba.
Wabula Kimera teyamatira na kibonerezo kyamuweebwa n’addukira mu kkooti ejulirwamu ng’agamba omulamuzi mutonyi yamubigika ogubonerezo gunene ng’ate yali akkirizza omusango nga tayonoonye budde bwa kkooti ssaako okubeera nti gwe gwali omulundi ogusoose okuzza omusango.
Abalamuzi basatu aba kkooti ejulirwamu okuli Geoffrey Kiryabwire, Ketra Katunguka ne Cornelia Kakooza Ssabiiti bwe beekenyezza ensala y’omulamuzi Mutonyi ne bazuula ng’ekibonerezo ekyaweebwa kyali kinene ne bamusalirako.
Abalamuzi bagambye nti wadde bakkiriziganya ne mutonyi nti Kimera okusiiga omwana akawuka ka siriimu kyali kibi naye ate okumusalira emyaka 40 kyali kinene nnyo noolwekyo baakitoddeko ne bamuwa emyaka 30 ne batoolako emyezi etaano n’ennaku 27 ze yali amaze ku limandi olwo waakumalayo emyaka 29 n’emyezi mukaaga okuva mu February 2024 lwe yasibwa.