AB'OLUGANDA lwa Waiswa Mufumbiro ne bannakibiina ki NUP bakukulumidde kkooti olw'okugaana okukkiriza okusaba kwe okw'okumweyimirira asobole okugenda okuziika mukyala we.
Taata wa Mufumbiro Moses Baligeya Mufumbiro, ab'oluganda lwe, ba puliida n'abakulembeze ba NUP nga bakulembedwamu akolanga pulezidenti w'ekibiina ow'ekiseera Dr Lina Zedriga baakedde kweyiwa ku kkooti e Kanyanya okuwulira ensala ya kkooti kukusaba kw'okweyimirirwa kwa Alex Mufumbiro nebanne era nga buli omu yabadde bulindala okulaba oba kkooti enamukkiriza okuyimbulwa kakalu kaayo okugenda okuziika mukazi we ekitaasobose.
Abavunanibwa tebaleteddwa ku kkooti era kkooti yeyambisizza nkola ya Zoom okuwa ensala yaayo nga Mufumbiro ali mu kkomera e Luzira oluvanyuma lw'abebyokwerinda okwekengera nti wandibaawo obusambattuko ku kkooti.
Nga ziweze saawa 4:30 ez'okumakya ba puliida n'abakulembeze bagenze mu kafubo n'omulamuzi gyebabategerezza nga omusango bwegugenda okuwulirwa nga beyambisa enkola ya zoom era abasibe tebaleteddwa.
Nga wayise eddakiika ntono nnyo bano bazzeeyo mu ofiisi y'omulamuzi okuwulira omusango gwa Mufumbiro gwavunanibwa yekka maaso g'omulamuzi Roseline Nsenga ogw'okukuma mu bantu omuliro wabula okusinzira ku Kakulu Tumusiime omu ku bannamateeka yategeezeza nti ab'amakomera bategeezeza nga bwebabadde bakyetaagayo essawa namba okwetegeka.
Ku ssaawa mukaaga kitundu kkooti yatudde okuwulira okusaba kwa Mufumbiro ku musango gw'okukuma mu bantu omuliro era nga bannamawulire tebakirizidwa mu kkooti era oluvanyuma ba puliida babawawabirwa nga bakulembedwamu Sammuel Muyizzi n'akulira oludda oluvuganya mu palamenti Joel Ssenyonyi bategeezeza bannamawulire kkooti byesazeewo.
Oludda oluwawabirwa lwaleese Taata wa Mufumbiro ne loodi mmeeya Omulonde Ronald Balimwezo okumweyimirira wabula bano omulamuzi yategeezeza nga bwebatasobola kulagira Mufumbiro kudda mu kkooti nga taata wa Mufumbiro mwavu oluvanyuma lw'okuba nga yawummula ate Balimwezo ali wala nnyo ne Mufumbiro kuba tamulinaako luganda.

Taata wa Waiswa Mufumbiro ng'asobeddwa ku kkooti
Taata wa Mufumbiro yavudde mumbeera n'ategeeza nga abawaabi ba gavumenti bwebaagala okulaga nti bakola nnyo era baagala kusanyusa gavumenti ebalinnyise amadaala n'ategeeza nti tewali asinga ye omuzadde eyekuliza omwana kumubaako nabuyinza.
"Bw'aba agamba nze taata we sisaanidde ne mukwano gwe naye tasaanidde kati atuwe abantu b'ayagala tumuleetere naye bo bakola bwebatyo kubanga beegula okufuna obukulu naye obukulu tebabufuna bwebatyo kumusaayi gwabantu" Baligeya bweyategeezeeza.
Ba puliida ba NUP nabo olumaze okuwulira ensala ya Roseline Nsenge ku musango gw'okukuma mu bantu omuliro bekandazze nebazira okulinnya mulutuula lwa kkooti lwonna nga abawawabirwa tebaleteddwa kuba enkola ya Zoom ekozesedwa tewadde muntu waabwe mukisa kuwulirwa mu kkomera gy'ali nga n'eky'okubeera nga omulamuzi Nsenge y'akulira kkooti ensala y'omulamuzi Damalie Angumasiimwe gw'atwala tesobola kwawukana na yamukamawe mumusango gw'okukola dduyiro w'ekinamagye nebategeeza nga abalamuzi bano bwebakolera kubiragiro.
Omusango gw'okukola dduyiro w'ekinamagye Mufumbiro gw'aliko nebanne 20 Doreen Kaija, Calvin Tasi (Bobi Giant) Achileo Kivumbi, Edward Ssebuufu amanyiddwa nga Eddie Mutwe, Sauda Madaada, Yasin Nyanzi, Edwin Sserunkuma eyeyita Eddy King Kabejja, Toney Kaweesi, Sharif Lukenge n'abalala