Amawulire

Obubbi bw'ente obucaase mu Wobulenzi bweraliikirizza ssentebe waayo

SSENTEBE wa LC1 ow'akatale zzooni e Wobulenzi mu Luweero era nga ye Ssentebe w'abasuubuzi b'ente mu kitundu ekyo, Amiru Habibu Adam Nsubuga, alaze obwennyamivu olw'obubbi bw'ente obususse mu kitundu ekyo.

Obubbi bw'ente obucaase mu Wobulenzi bweraliikirizza ssentebe waayo
By: Musasi Bukedde, Journalists @New Vision

SSENTEBE wa LC1 ow'akatale zzooni e Wobulenzi mu Luweero era nga ye Ssentebe w'abasuubuzi b'ente mu kitundu ekyo, Amiru Habibu Adam Nsubuga, alaze obwennyamivu olw'obubbi bw'ente obususse mu kitundu ekyo.

Ategeezezza nti ababbi b'ebisolo, basinze kweyambisa mmotoka za buyonjo mwe bazitambuliza nga bamaze okuzibba, kwe kusaba poliisi okwongera okubayamba.

Ayongeddeko nti n'obubbi bw'okumenya amaduuka n'amayumba mu kitundu ekyo nabwo mwebuli  nga kuno kw’ogasse n'obubbi bwa pikipiki obweyongedde.

Nsubuga alaze obwennyamivu olw'abaana abawala abato, abayingidde mu kitundu ekyo nga beenyigira mu kukola obwamalaaya , n'asaba abazadde n'abeebyokwerinda okuyambako ku mize gino.

Tags:
Wobulenzi
Ssente
Misango
Bubbi
Mateeka
Nte