Abantu bana ababadde batambulira ku bodaboda, bafiiriddewo ekimotoka ekibadde kyetisse ebikajjo bwe kibagwiridde e Kamuli.
Akabenje, kabaddewo ku ssaawa nga 12:00 ku kyalo Bulunda ku luguudo oluva e Kamuli okudda e Namasagali, loole Fuso nnamba UAM 983F, bwegwiridde pikipiki nnamba UDN 411 N okubadde abantu bana.
Abafudde, kuliko Grace Mudumba ng'abadde mutuuze w'e Naibowa e Butansi mu Kamuli, Lydia Nanzala 38 we Naibowa, Stephen Makayi 40 ow'e Busiba cell Southern Division ne Charles Balinaine 42 nga naye w'e Busiba.
Ebidduka byombi bibadde byolekera Kamuli nti bwe batuuse e Bulunda, Sinotruck nti okwewala okutomeregana n'emmotoka endala ebadde eva mu maaso, agezezzaako okugiwugula nti kyokka n'emulemerera n'egwira ababadde ku pikipiki ne yEevulungula, ebikajjo ne bibabikka.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti ddereeva wa Sinotruck adduse era bamuyigga .