Amawulire

Poliisi eyigga ddereeva agambibwa okutomera omuvubuka n'amutta n'abulawo

POLIISI e Kassanda, eri mu kuyigga ddereeva agambibwa okutomera omuvubuka myaka 30, n'amutta , oluvannyuma n'abulawo.

Poliisi eyigga ddereeva agambibwa okutomera omuvubuka n'amutta n'abulawo
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Kassanda, eri mu kuyigga ddereeva agambibwa okutomera omuvubuka myaka 30, n'amutta , oluvannyuma n'abulawo.

 

Akabenje, kabadde ku kyalo Mwasapikopo e Kassanda, mmotoka ekika kya Elf etannategeerekeka nnamba egambibwa nti ebadde yeetisse ettaka, bw'etomedde Godfrey Isoka Ssentiba n'emutta.

Omugenzi bw'abadde afaanana

Omugenzi bw'abadde afaanana

Wabula nnyina w'omugenzi Milly Nanfuka nga bali ne Kojja we Sserunjogi, bagamba nti okufa kwa mutabani waabwe, kubadde kugenderere olw'enkaayana z'ebibanja , ze babadde nazo mu ffamire

 

Alumirizza ddereeva ategeerekeseeko erya Ssempijja, okuba nga ye yakoze akabenje era ng'okuva olwo , yabuzeewo. Bagguddewo omusango mu poliisi y’ebidduka e Kassanda, ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.

 

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck Kigozi, ategeezezza nti omusango gwe babadde banoonyerezaako, gwa mmotoka kutomera n'edduka nti naye engeri gye mulimu enkaayana mu bibanja, balagidde bambega ba poliisi , okulondoola ensonga zino.

Tags:
Kitalo
Ttemu
Mmotoka
kutomera