ABAAZIRWANAKO n'abatuuze mu Greater Luweero bali mu kiyongobero olw'okufuna amawulire g'okufa kw'eyali omulwanyi eyafudde ekikutuko.
Hajji Sula Sserunjogi nga kitaawe w'omubaka omukazi owa Nakaseke Sarah Najjuma yafiiridde mu maka ge mu kabuga Ssemuto mu disitulikiti ya Nakaseke ku Lwomukaaga.
Yamanyibwa nnyo mu kutunga yunifoomu z'abayeekera ba NRA n'okubasakira emmere naddala bwe baddukira e Swsingo ng'olutalo lukalubye.
Amyuka ssentebe wa disitulikiti ya Nakaseke Richard Mavuuma era nga ye kkansala w'ekitundu kino ekya Semuto yagambye nti Sserunjogi y'omu ku baazirwanako mu nsiko e Luweero mu lutalo olwaleeta NRM mu buyinza ng'abadde ku ddaala lya Major.
Yaliko omumyuka wa RDC mu bifo eby'enjawulo bwe yawummula n'adda mu busuubuzi ng'abadde alina bizinensi n'ebizimbe ebiwerako mu kabuga Semuto. Agenda kuziikibwa ku nkya ku Mmande e Ssemuto.