Ensonga z’omukazi eyalese omulambo mu takisi zikyalanda, abaffamire batankana omwana waabwe!

Abamu ku baffamire y'omugenzi
EBYA maama agambibwa okuleka omulambo mu ttakisi bwe yabadde agutwalira abooluganda lw’omusajja okuguziika zikyalanda ng’abamu ku booluganda lw’omugenzi bavuddeyo ne bategeeza nti kyandiba ng’omukazi omwana yamugabidde omusajja omulala nga bino by’akola ali mu kubazannyisa kuba ebbanga lyonna okuva bwe yafuuka mulamu waabwe azze abakolako katemba mu n’obusolosolo.
Kimuli Jumba omutuuze ku kyalo Ngalonnyambe ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana ku Lwomukaaga yalinnya ttakisi okugenda ku kyalo kye kimu gye bazaala omugenzi Paulina Namigadde ow’emyezi etaano ng’ono kigambibwa nti yafiiridde mu ddwaliro e Mulago gye yabadde atwaliddwa okujjanjabibwa.

Bbebi eyafudde
Wabula, abamu ku booluganda lwa Namigadde baatandise okutankana omwana waabwe. Faith Nabasirye, ssenga w’omugenzi Namigadde yagambye nti balina obulumi bungi ku ngeri Kimuli gye yeeyisaamu eri abooluganda n’ategeeza nti n’abaana abalala be balina ssinga tebafuna mulambo gwa mwana waabwe tebagenda kutegeera kituufu nti oba baabwe.
Yategeezezza nti beebuuza engeri gye yafulumamu mmotoka kyokka n’atabaako muntu gw’agamba nti nkomawo ekintu ekyabaleetedde okwekengera nti omwana ayinza okuba nga ssi waabwe.
Robert Kigembe nga naye taata w’omugenzi agambye nti mukyala waabwe babadde ebiseera ebisinga tebamwesiga ate nga abamu baali baamukyawa ku ngeri gyebyali ayagala okukuba maama waabwe nga amunenyezzaako ku ngeri gy’apaalamu n’abasajja abalala.

Ssenga w'omugenzi
Ayongeddeko nti yatuuka n’okwesuula eddalu ng’agamba nti waliwo abamukola ekikyamu nga kati tebakyayagala kumulabako ssinga tababuulira kituufu oba ddala omwana yamugabye.
Omuwanika w’abavuzi ba ttakisi e Matugga, James Ssenyange agambye nti tebakkirizza nti omukazi ayinza okuba nga yalese omulambo nga bo basubira nti mu mmotoka ayinza okuba nga yabaddemu n’omuntu omulala gwe yabadde naye nga ye yatutte omulambo gw’omwana gwe bagamba nti waabwe.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire agambye nti baawadde abaffamire amagezi okugenda mu ddwaliro e Mulago okufuna ebbaluwa olwo poliisi nayo etandike okunoonyereza kuba bwe kiba nga yafiiridde e Mulago, eddwaliro lirina okubawa ekiwandiiko ekirala ekikakasa nti omwana yafiiridde Mulago.