WABADDEWO akasattiro mu ppaaka ya bbaasi mu Kampala, kondakita bw'agudde ku mmundu mu migugu gy'abadde ayaza.
Nnyini mmundu eno , yeemuludde n'abulawo era nga poliisi n'ebitongole ebirala ebikuumaddembe, bitandise omuyiggo okumuzuula.
Bibadde mu ppaaka ya bbaasi ya Tausi e Bukesa mu Kampala Central , omuntu abadde yeeyita omusaabaze, bw'atuukiridde kondakita n'ekiveera nga yeefuula agenda.
Kitegeezeddwa nti kondakita amuwalirizza okusooka okukyaza, omusaabaze ky'agaanyi nti kyokka bwe basumuludde bagudde ku mmundu ekika kya AK 47 ne magaziini omutali masasi.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti, oluvannyuma omusaabaze yeemuludde n'abulawo, era bamuyigga.