Amawulire

Kamisona awadde ab'e Kira amagezi okusoosowaza enkola ya 'Buy Uganda Build Uganda'

Kamisona okuva mu kitongole ky'ebyobusuubuzi n'amakolero, Fred Ahimbisibwe, awadde aba Kira Municipal Council amagezi g'okukozesa enkola ya 'Buy Uganda, Build' Uganda" (BUBU) okusobola okutambuza obulungi omwoleso gwabwe ogweby'obusuubuzi gwe batongozza.

Kamisona awadde ab'e Kira amagezi okusoosowaza enkola ya 'Buy Uganda Build Uganda'
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Kamisona okuva mu kitongole ky'ebyobusuubuzi n'amakolero, Fred Ahimbisibwe, awadde aba Kira Municipal Council amagezi g'okukozesa enkola ya 'Buy Uganda, Build' Uganda" (BUBU) okusobola okutambuza obulungi omwoleso gwabwe ogweby'obusuubuzi gwe batongozza.

Ahimbisibwe agambye nti omwoleso gwakuyambako nnyo okutumbula okusiga ensimbi, okuyunga ebitongole bya Gavumenti ku bannamakolero abaawano,  bannankulaakulana, abayiiya, n'abatuuze nga boolesa ebyamaguzi ebikolebwa mu Kira ne Wakiso okutwaliza awamu. 

Fred Ahimbisibwe Ng'ayogera Eri Banna Kira (1)

Fred Ahimbisibwe Ng'ayogera Eri Banna Kira (1)

Paddy Kakumba omumyuka wa 'town clerk' w'e Kira ategeezezza nti omwoleso guno gwatandise nga 14 April, 2026 nga gwakumala ennaku ssatu okutuusa nga 17 April 2026 gujja kuyamba nnyo mu kwongera ku buyiiya mu kitundu mu bannamakolero ssaako okunyweza enkolagana wakati w'ebitongole bya gavumenti n'abasuubuzi. Aweze nga bwe bagenda okwongera okusikiriza abantu okwetaba mu mwoleso guno olwo kibasibozese okuwabulagana n'okukolera awamu.

Abamu Kubanna Kira Abetabye Ku Mukolo

Abamu Kubanna Kira Abetabye Ku Mukolo

Meeya wa Kira Julius Mutebi Nsubuga Ssaalongo ategeezezza nga Kira bw'eri emu ku zi munisipaali ezikulira ku misinde egya yiriyiri nga agiyise entabiro y'enkulaakulana, obuyiiya n'okusiga ensimbi.

Mutebi agamba nti omwoleso katundu ku nteekateeka za munisipaali ezigenderera okutondawo okuyungagana wakati w'abakozi  b'ebintu ebyenjawulo, bamusigansimbi, n'abaguzi b'ebintu ebikolebwa n'ekigendererwa ky'okukuza Kira okuva ku mutendera ogumu okugenda ku mulala.

Nga Batongoza Omwolese E Kira (1)

Nga Batongoza Omwolese E Kira (1)

Omukiise okuva mu kibiina kya banneekoleragyange (Private Sector Foundation Uganda), Ronnie Mulongo akubye omulanga eri abasuubuzi mu ggwanga lyonna okwettanira enkola y'okwolesa olwo kyongere okuvuganya mu mutindo gw'ebikolebwa, alabudde bannakolero okwewala okukolera mu kwekweka n'obutakolera wamu bwe kibakonzibya n'emirimu gyabwe n'agamba nti bwe banaakozesa okwolesa kisala ku nsimbi ze bassa mu kulanga, okwongera ku mutindo, n'okutondawo akatale k'ebyamaguzi akanene. 

Omwoleso guno gwegusoose  mu Kira era basuubira nti gujja kukolera nnyo abasuubuzi kubanga Kira ekulaaakulana ku misinde saako omuwendo gw'abantu ogulinnya nga bino byonna byesigamiddwaako mu kutumbula ebyensuubula, abantu okwetaba mu nkulaakulana gattako obuweereza obulungi.

Tags:
Buy Uganda Build Uganda
Kira
Bannamakolero
Private Sector Foundation Uganda

Emboozi Ezifanagana