Amawulire

Nnamwandu w'omugagga wa massomero ga Hormisedalline yetondedde abantu bonna bba beyasobye

Nnamwandu w'omugagga wa massomero ga  Hormisedallen Nalongo  Rita Kizito yetondedde abantu bonna bba beyasobya.   

Namwandu Nnalongo Rita Mukalazi
By: Nsimbi Ponsiano, Journalist @New Vision

Nnamwandu w'omugagga wa massomero ga  Hormisedallen Nalongo  Rita Kizito yetondedde abantu bonna bba beyasobya.

Bino abyogeredde mukusabira bba Ssalongo Kizito Mukalazi ku kkanisa ya Christianity Focus centre Mengo Kisenyi mu kusaba okukulembeddwamu Omusumba Dr.David Kiganda.

Kirabira ssentebe w'ekibiina omwegatira aamasomero gw'obwananyini

Kirabira ssentebe w'ekibiina omwegatira aamasomero gw'obwananyini

Nnaalongo agambye nti yadde bba abadde omusajja ow'omutima omulungi ayagaliza era atalina kkonda ku muntu yenna kyokka wayimza okubaayo beyanyiza mu butali bugenderevu nasaba bamusinyiwe.

Yeeyamye okutwala mu maaso obuweereza bwa bba naddala mu kkanisa era ng'ayogedde eby'enjawulo byabadde nabyo okuli eky'okuzukuka nga ku ssaawa 8:00 ogw'ekiro buli lunaku okweteekateeka byalina okukola ,okusiiba ennaku 40 ng'asabira amassomero ge mu biseera bye bibuuzo n'ebirala.

Bamulekwa nga boogera

Bamulekwa nga boogera

Bamulekwa nga bakulembeddwamu Denis Kizito beebazizza nyabwe n'abantu bonna abayimiriddewo ku lwa kitaabwe mu bulwadde.

Ssentebe w'ekibiina omwegattira amassomero gw'obwananyinyi Asadu Kirabira atenderezza Mukalazi olwetoffaali n'omusingi gwe yasiima okutambulira amalwaliro gw'obwananyini ne banne.

Omusumba Kiganda ategeezazza nti Mukalazi yamulamira okubulira enjiri y'obulokozi  ku lumbe lwe.

Omusumba Kiganda ng'abuza ku nnamwandu

Omusumba Kiganda ng'abuza ku nnamwandu

Amwogedde ng'omusajja abadde omukiriza nasekerera abagagga abataasa kitiibwa ku Katonda nga beegulumizza olw'obugagga bwabwe ekitabadde ku mukalazi.

Omubiri gwa Mukalazi gutusiddwa ku kkanisa wakati mu kukuba bbandi n'okusaakanya.

Mukalazi wakuziikibwa enkya e Kagambe_Matugga