POLIISI e Mubende ezudde omwana owa wiiki essatu abadde yabbiddwa okuva mu nnyumba , nnyina mwe yabadde amulese nga yebase.
Omwana ono Dillary Sentume , yabbiddwa okuva mu nnyumba e Kitonzi A mu Ggombolola y'e Lubimbiri e Mubende nga April 25 akawungeezi , nnyina Janet Ainembabazi bwe yabadde agenze okubaako by'agula.
Kigambibwa nti omwana, asangiddwa ne Jovia Nakacwa mu katawuni k'e Kiruma mu maka ga Sharon Kababiito era bombi ne bakwatibwa.
Abakwatiddwa abalala, kuliko Yahaya Sebuliba agambibwa okubba omwana n'amutwalira Nakacwa , ne bba wa Nakacwa Claude Ndayinzeeyi.
Omwogezi wa poliisi mu Wamala Lamerk Kigozi, ategeezezza nti omwana ali mu mbeera nnungi era nga bamuddizza abazadde .