OMUBAKA omulonde owa Kalungu East Kiruluuta Nkerettanyi asoyezza kajogijogi w'ebibuuzo Hajji eyamuggulako omusango gw'okusangibwa ne kateni enzibe.
Ono bakira ebibuuzo by'amubuuza nga agezaako okubyebalama nga addamu ebitakwatagana weyatuukidde n'okumubuuza oba yali amulabyeko mu maka ge gyagamba nti kateni gyezabbibwa.
Kiruluuta yatuuse n'okumukaza n'amubuuza ddala bwaba nga talina kakuku konna kamulinako olw'okumala okuyingira omulimu gwegumu ddala kiki ekyamutwala ku kitebe kya NUP amulimirire obutafuna kkaadi.
Kuno yagaseeko okuubuuza ekibuuzo ekyokuleeta obukakafu nga yemuntu yeka eyalina okubeera nga yasuubuza engoye ezo yekka ku katale wabula mu kumwanukula yategeezezza nga mukiseera webabbira ebintu bye baali abantu babiri abaali basuubula engoye ekika ekyo.
Ku nsonga y'okuba nga amulumiriza nti yamubba yategeezezza nti talina muntu yenna gweyalaba nga atwala ebintu bye wabula nga mukyala we eyasigaza nga ebisumuluzo gwalumiriza okuba nga yeyabibawa ne babba katteni ze.
Kuno yagaseeko ekyokuba nga omwana eyabeera nga ewaka bweyalaba Ivan Ziwa bweyasomba nga ebintu era nga ekisumuluzo gwebakikwasanga
Yategeezezza kkooti nti okutegeera nga bamubba yatega loolo za katteni 30 kuba yali atandise okubekengera era yakizuula nga babadde bamubbira ddala kuba mukifo kyokutikka loolo 70 batikkanga 50.
Nkerittanyi avunaanibwa ne Hamza Mugumya, Zziwa ,John Tamale ne eyali mukyala wa Hajji Shamira Nakacwa bebavunaanibwa omusango gw'okufuna kateni enzibe nga zibalirirwamu obuwumbi 3 n’omusobyo okuva ku Hajji Sulaiman Lwabuuka Kasule.
Kigambibwa nti bano n’abalala abatannaba kukwatibwa, wakati wa 2018 ne 2022 ku ki kizimbe Kya Eagle Plaza mu Kiyembe mu Kampala District n’e Bweya Kajansi, babba ebintu okuli kateni, ebyuma ebizikwata ekintu ekikontana namateeka
Omusango gwayongezeddwayo okutuusa nga May 11,2026