Amawulire

Omuntu omu afudde abalal babiri ne bagenda n'ebisago oluvannyuma lw'ekimbe okubagwiira e Mbale

Omuntu omu yakyakasiddwa nti afudde n'abalala babiri ne balumizibwa, ekizimbe ekyemyaliiro ena ekibadde kizimbibwa bwe kibagwiridde e Mbale. 

Ekizimbe ekigwiridde abantu e Mbale
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuntu omu yakyakasiddwa nti afudde n'abalala babiri ne balumizibwa, ekizimbe ekyemyaliiro ena ekibadde kizimbibwa bwe kibagwiridde e Mbale. 

Mu kiseera kino, poliisi ekyakola obutaweera okuzuula abantu abalala abakyawagamidde mu bifunfugu wansi.

Aba Red Cross nga badduukiridde abafunye obuzibu

Aba Red Cross nga badduukiridde abafunye obuzibu

Bino, bibadde Kachumbala Cell e Namakwekwe ward mu Northern Division e Mbale, ekizimbe bwe kigudde ku ssaawa nga Munaana mu kiro ekikeesezza leero. 

Ayakakasibwa ng'afudde, ye Andrew Wonyakakla ng'abadde akola nga foreman so ng'ate abantu babiri Ashraf ne Emmanuel tabannalabikako bakyabanoonyeza mu mafunfugu. 

Kyokka ye Alfred Masaba 20 omwetissi nga mutuuze w'e Kachumbala agiddwayo nga mulamu era ali mu kufuna bujanjabi. 

Omwogezi wa poliisi e Mbale Rogers Taitika ategeezezza omu ku bawonyewo agambye ekizimbe kigudde ne kigwira ennyumba eriraanyewo kyokka ye n'asobola okusimattuka. 

Ayongeddeko nti okusima kukyagenda mu maaso nga banoonya abalala.