Amawulire

Ettemu: Basatu battiddwa mu wiikendi

ABANTU 3 battiddwa mu bukambwe n’abalala babiri ne bagendera ku bisago oluvannyuma lw’okukubwa amasasi.

Abapoliisi n’abatuuze nga basitudde omulambo gwa Achienge okuguteeka ku kabangali ya poliisi eyagututte e Mulago.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ABANTU 3 battiddwa mu bukambwe n’abalala babiri ne bagendera ku bisago oluvannyuma lw’okukubwa amasasi.
E Matugga, omuwala ow’emyaka 18 Lydia Achienge ng’abadde mukozi mu kkampuni emu, yasangiddwa ng’attiddwa, omulambo gwe ne gusuulibwa ku kkubo.
Kigambibwa nti ono yandiba nga yatugiddwa muganzi we, ng’omulambo gwalabiddwa abantu abaakedde okugenda okukola ku Lwomukaaga.
Ssentebe w’ekyalo kino, John Lubwama yagambye nti, ekifo awaasangiddwa omulambo kibuutikiddwa enzikiza ekintu eky’obulabe ennyo.
Omulambo gwaggyiddwaawo Poliisi eyabadde eduumirwa DPC w’e Matugga, Yudaaya Mugoya ne gutwalibwa mu ggwanika e Mulago.
Ate e Nammere mu Kawempe, poliisi eyabadde egoba abagambibwa okuba ababbi ba bodaboda, yakubye amasasi agaakwatiddemu omuvubuka Najib Kivumbi 18, n’afiirawo. Byabaddewo mu kiro ekyakeesezza Olwokutaano ku ssaawa 10:00 ez’ekiro.
Difensi w’ekyalo, John Balumpe yategeezezza nti ababbi baabadde babbye bodaboda mu paakingi era maneja waayo ye yabatemezzaako nabo ne batemya ku poliisi y’e Kawempe. Mu kufuuza ababbi, omusirikale yakubye amasasi agaakutte Kivumbi ng’ava okukola.
OWA CAPATI ASAZE OMUYIZI OBULAGO
Ate e Serere, poliisi eyigga omuvubuka agambibwa okukkakkana ku muganzi we abadde omuyizi ku Serere SS n’amusala obulago n’afa. Kigambibwa nti ono yabadde amulumiriza okuganza omuvubuka omulala gwe yamusanze naye nga bava mu ndongo.
Julius Lazarus Otim, 23, omutunzi wa capati nga mutuuze w’e Ocaapa Central Ward y’agambibwa okutta Miriam Acama.
OWA URA AKUBYE ABANTU AMASASI E MUKONO
Poliisi e Mukono enoonyereza omukungu w’ekitongole ky’ebyemisolo ekya URA, Godson Mwesigye agambibwa okulagira omukuumi we okukuba amasasi mu mmotoka omwabadde abantu babulijjo.
Bino byabadde ku luguudo lw’e Katosi mu disitulikiti y’e Mukono era abantu babiri baalumiziddwa nga kigambibwa nti baabadde baliko ebyamaguzi bye bakukusa.
Omwogezi wa URA, Robert Kalumba yakakasizza eky’omukozi waabwe okuba n’akakwate ku masasi gano kyokka n’awakanya ebyogerwa nti yadduse.
Kalumba yagambye nti, okukuba amasasi kyavudde ku mmotoka y’abakozi baabwe eyabadde egobagana n’emmotoka eteeberezebwa okubaamu ebyamaguzi ebitaasasudde musolo.
Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire yategeezezza nti, nga bakolagana ne URA, batandise okunooyereza ku nsonga eno. Omu ku baalumiziddwa ye Joseph Tamale eyaddusiddwa mu ddwaaliro e Nsambya era omusango gwagguddwaawo ku poliisi y’e Mukono ku ffayiro nnamba SD 66/26/04/2026.