Aba Youth Wealth Creation, okuva mu munisipaali ettaano ezikola Kampala bakoze Bulungibwansi mu katale k' e Nakawa nga beetegekera okulayira kwa pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni Olwokubiri olujja e Kololo.

Omukwaanaganya wa, Youth Wealth Creation, mu gwanga, Faisal Ndase, anyonnyodde nti bakoze okuyonja nga bajjaguza olunaku lw’okulayira kwa pulezidenti e Kololo nga 12th May 2026 era n’akunga abantu okujja mu bungi babeewo ng’abajulizi.

Maketimaansita w’akatale k'e Nakawa, Joel Isabirye asiimye aba Youth Wealth Creation okuva mu State house olw’okubegattako okulaba nga bakuuma obuyojo kubanga pulezidenti ayagala bantu be okukolera awatebenkevu