Amawulire

Abaanonyeza Pulezidenti Museveni akalulu mu Southwestern Uganda bawandiikidde Pulezidenti nga beemulugunya ku ssente ezabasuubizibwa

BANNAKIBIINA kya  NRM abaakola mu kunonyeza NRM akalulu mu Southwestern Uganda bawandikidde pulezidenti Museveni nga bemulugunya ku ssente zaabwe obuwumbi 2 n’obukadde 400 ezaabasubizibwa ng’okulonda kuwedde.    

Abamu ku bantu abali mukwemulugunya
By: Peter Ssaava, Journalist @New Vision

BANNAKIBIINA kya  NRM abaakola mu kunonyeza NRM akalulu mu Southwestern Uganda bawandikidde pulezidenti Museveni nga bemulugunya ku ssente zaabwe obuwumbi 2 n’obukadde 400 ezaabasubizibwa ng’okulonda kuwedde.

Bano balumiriza Peace Rugambwa eyabakunganya n’abakolamu ekibiina ate nti okweddiza ssente zaabwe nazirya nga kati bwe bamukubira takwata ssimu wadde okubaako kyabannyonnyola.

Abamu ku banoonyeza pulezidenti akalulu

Abamu ku banoonyeza pulezidenti akalulu

Bano nga bava mu disitulikiti 12 okuli Rukungiri, Mitooma, Kabale, Ntungamo, Rubanda, Rukiga, Rwampara, Kanungu, Kisoro, Bushenyi, Sheema ne Isingiro, balumiriza Rugambwa okulya ssente zaabwe ate nga baayamba nnyo banna NRM okuwangula akalulu ne Pulezidenti n'awangulira waggulu.

Mu kiwandiiko ekyandikiddwa nga May 1, 2026, banna NRM bano nti Rugambwa yabateeka mu kibiina kya “Team Peace Rugambwa door to door mobilization for NRM flag bearers” kyokka kye yabasuubiza tebaakifuna.

Ekiwandiiko kino baakiwaddeko n’amyuka ssentebe wa NRM mu ggwanga, ssabawandiisi, omuwanika ssaako neba ssentebe ba NRM mu disitulikiti 12 omwava bammemba abaanoonya akalulu.

Collins Mumpe, eyali akulira banna NRM bano era nga yeyakulemberamu ab’e Mitooma, yategezezza nti baatuula ne Rugambwa era nabategeeza nga bwebagenda okukola ekibiina bakunge abantu olwo balisasulwa ng’okulonda kuwedde.

“Rugambwa yatusuubiza emitwalo 2 buli lunaku eri abakunga ku miruka, emitwalo 5 eri abakola ku ggombolola, emitwalo 10 eri abakola mu constituency ssaako obukadde busatu eri aba disitulikiti kyokka tewali n’omu yafuna ssente zino.” Rugambwa bweyayongeddeko.

Yagambye nti mukubala ewamu, babanja Rugambwa obuwumbi 2 n’obukadde 400 kyokka buli lwebamukubira essimu azijjaoo era taddamu kuzikwata, nabo nebasoberwa kukiki ekiddako kuba abamu baalekawo n’emirimu gyabwe mukiseera ky’akalulu.

Abamu ku bantu abali mukwemulugunya

Abamu ku bantu abali mukwemulugunya

Mumoe yagambye nti banna NRM 4205 bebaakola omulimu gw’okukunga nga bano bonna baakunganyizibwa ku maanyi ge, nasaba Pulezidenti Museveni abayambe basobole okufuna ssente nti kuba baawulirako nti Rugambwa yazifuna kyokka abaalina okuzifuna nebataziweebwa.

Ye Rugambwa ku ssimu, yategezezza Bukedde nti ensonga zino Pulezidenti Museveni azimanyiiko era nagamba nti ebimwogerwako tabimanyi. Yagambye nti Mumpe amulumiriza obutabasasula tamumanyi mubantu beyakozesa