Amawulire

OMWANA ow'emyaka 6 ettaka libumbulukuse ne limuziika, bw'abadde alembeka amazzi mu nkuba e Bududa

OMWANA ow'emyaka 6 ettaka libumbulukuse ne limuziika, bw'abadde alembeka amazzi mu nkuba e Bududa.

OMWANA ow'emyaka 6 ettaka libumbulukuse ne limuziika, bw'abadde alembeka amazzi mu nkuba e Bududa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMWANA ow'emyaka 6 ettaka libumbulukuse ne limuziika, bw'abadde alembeka amazzi mu nkuba e Bududa.

Enjega ebadde ku kyalo Shibeya mu muluka gw'e Buyi mu Ggombolola y'e Busiriwa e Bududa , ettaka bwe libumbulukuse mu nkuba ne liziika Joyce Kwambukha 6 muwala wa Peter Nakhokho.

Kigambibwa nti ono ne batoobe, babadde bali ku lubalaza balembeka mazzi n'okusena , ettaka kwe kubabikkira ku kisenge ky'ennyumba abalala basimattusse kyokka ye Joyce n'afiirawo.

Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, alabudde abantu mu bitundu ebyo, nti mu kiseera kino ng'ekuba etonnya, balina okubeera abagendereza ennyo okwewala okubumbulukuka kw'ettaka nti ne bwe kiba kisoboka, basenguke.