ABANTU babiri ababadde batambulira ku pikipiki, batomeddwa mmotoka n'ebattirawo e Mityana.
Akabenje kabadde mu kitoogo kya Mpamujugu ku luguudo oluva e Mityana okudda e Mubende era ng'abagenzi babadde boolekera ku kyalo Kigalama era nga kigambibwa nti batomeddwa mmotoka ekika kya Toyota Harrier UBM 778A ebadde ebavaako emabega.
Abafudde, bategeerekese nga Eraibu Kyeyune 30 ow'e Naama Mityana ne Derrick Migadde 23 ow'e Kiyoogaanyi e Mityana .
Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti emirambo gitwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mityana okwekebejjebwa, pikipiki n'emmotoka ne bitwalibwa ku poliisi e Mityana.