WAABADDEWO akasattiro ku kitebe kya disitulikiti e Wakiso mu kulayiza ssentebe ne bakkansala, omu ku besimbawo n'awangulwa bwe yakwakukkudde bayibuli ku munne eyabadde alayira ekyareseewo embeera y’obunkenke.
George Kikabi owa NRM nga yali yesimbyewo ku bwa kkansala bwa Nansana division ku disitulikiti yeyakwakkudde bayibuli ku Vincent Mulindwa owa NUP ng’agamba nti yamuwangula mu kalulu.
Kino kyawalirizza DPC wa Wakiso Esther Kiiza okukkakkanya embeera era nalagira Kikabi okuva webaabadde balayiriza bakkansala kyokka ng’agenda atolotooma nti obuwanguzi bwe babututte.

Poliisi ng'ekkakkanya embeera
Oluvannyuma Mulindwa yagenze mumaaso n’akuba ebirayiro bye era ng’ono yategezezza nti agenda kulaba ng’okusomoozebwa okuli mu disitulikiti okuli enguudo, okukomyawo ekitiibwa kya disitulikiti n’olukiiko lwa kanso kwagenda okutandikira.
BAKKANSALA 105 BEBAALAYIDDE;
Ssentebe wa disitulikiti ye Wakiso, Eng. Ian Kyeyune yeyasoose okulayira mukulayira okwaakulembeddwa omulamuzi wa kkooti ento e Wakiso Sikhoya Naume ng’ayambibwako akulira abakozi e Wakiso Jude Bukenya.
Kyeyune eyawangulira ku kaadi ya NRM, yategezezza nti akomyewo okulaba ng’atandikira weyakoma emyaka 15 emabega watabadde ku disitulikiti omuli okuzimba obutale, okumaliriza okuzimba ekitebe kya disitulikiti ssaako n’okulaba ng’amalwaliro gatekebwa ku mutindo.
Ono yagambye nti n’ekizibu ky’enguudo mu disitulikiti, okutondawo emirimu ssaako n’okukubiriza abantu okwegattira ewamu bakole ebibiina byebimu ku byagenda okutekako essira okulaba nga disitulikiti agizza waggulu.

Poliisi ng'etaasa embeera
Ono oluvannyuma, ssentebe wa disitulikiti eno abaddeko, Matia Lwanga Bwanika yakwasizza Kyeyune sitampu ya ofiisi, ssemateeka w’eggwanga, ebisumuluzo bya ofiisi n’ebyemmotoka.
Kyeyune yebazizza nnyo Bwanika olw’okuwaayo ofiisi mumirembe kuba batono abakikola era neyeyama okusigala ng’amwebuzaako kunsonga ez’enjawulo ezetagisa mu disitulikiti.
Abamu kubakkansala abaalayidde kuliko George William Ssemujju owa NUP ng’akikirira Kawanda-Nakyesanja, Fred Mukasa Kiwalakiku owa NUP nga we Kasangati, Ibrahim Kazibwe owa NRM akikirira abavubuka ne Deborah Mazzi owa NRM ng’akikirira abaliko obulemu.
Abalala ye Juliet Namataka owa NRM akikirira abakyala mu Wakiso Town Council, Edrwad Ssentalo owa NRM nga naye wa Wakiso Town Council, Sherry Karyebala owa NRM okuva e Ntebe, Afan Matovu owa NRM nga we Kakiri ne Cyrus Kasaato owa NUP ng’ava Kyebando.