Poliisi ya Mawanda Rd mu Kampala, enoonya abasajja babiri abasuddewo ebintu ebirowoozebwa okuba ebibbe ne babulawo.
Bino, bibadewo, poliisi bwebadde eri mu kulawuna negwa ku basajja babiri ababadde batambulira ku pikipiki nti kyokka ne basuulawo ensawo ne babulawo.
Mu kwaza ensawo eno, abasirikale basanzeemu essimu 8 eza iPhone, eza Tecno 3, eya Samsung 1, ne Laptop 1.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti bano be bamu ku babbi ababbira ku pikipiki era nga babayigga n'okuzuula nnyini bintu ebyo