SSERUNKUUMA JohnBosco amanyiddwa nga kaana ka Mbaata acamudde abawagizi be bwabadde akuba ebirayiro by’obwa mmeeya bwa munisipaali ye Nansana n'agumya abatuuze be Nansana nga bwazze okulwanirira omuntu wa wansi aganyulwe mu musolo gw'asasula.
Kaana Ka Mbaata ng'akwasibwa ebiwandiiko
Sserunkuuma eyabadde awerekeddwako ababaka okuli owa Mityana Francis Zzaake n’owa Nansana Zambaali Bulasio Mukasa ssaako aba famire ye yatuuse ku kitebe kye Nansana nga awerekeddwako enkuyanja ya bantu kyokka abamu ne baggalirwa wabweru ne bakkirizaako abo bokka ababadde bayitiddwa.

Kaana ka Mbaata ng'ali n'abamu ku bakulu okuva mu kibiina kya NUP
Ono yalayiziddwa omulamuzi wa kkooti ye Nabweru Sarah Namusobya nga olwamaze okukuba ebirayiro Townclerk wa Nansana Festo Tandeka namukwaasa offisi y’obwa mmeeya ne byonna ebigenderako okuli emotooka ne sitaampu .
Ye RDC wa Nansana Charles Lwanga yajjukizza bakkansala na bakulembeze ba Nansana abaggya okwewala entalo z’ebyobufuuzi ssaako okukozesa obubi offisi wabula bafeeyo okukulembeeza ebyo ebyabalondesa abatuuze baganyulwe mu bukulembeeze bwabwe.

Dab 14
Bakkansala abalala abakikirira ebitundu ebyenjawulo nabo balayiziddwa ku bifo ebyenjawulo wakati mu nduulu n’okuwaga okuva mu bawagizi bab