SSENTEBE wa District ye Wakiso Eng.Ian Kyeyune alabudde abakulembeze bonna abalondeddwa okussa ebbali enjawukana z'ebyobufuuzi wabula bakwatire wamu okulaba nga batuusa empeereza esaanidde eri abantu ababalonda awatali kwekwasa nsonga yonna.

Rachael Lukwago omumyuka wa sipiika we Nanana ng'akuba ebirayiro
Bino Kyeyune yabyogeredde Nansana mu kwanjulira abatuuze na abakulembeze abenjawulo abantu abawangudde obwa sipiika bwa Nansana n'obumyuuka n'asaba ababadde bavuganya okussa ebbali enjawukana z'ebibiina wabula babeere bumu n'asaba abatuuze okuteeka abakulembeze ku nninga okulaba nga baganyulwa mu ssente z'omusolo ogusasulwa.
Ye RDC wa Wakiso Justine Mbabazi wano weyasinzidde n'alabula bakkansala na bakulembeze ba munisipaali ye Nansana okutwala ekyokuyiga ku bikwekweto ebigenda maaso ku palamenti nti yenna anenyigira mu bikolwa by'enguzi amateeka gakumukwata era akangavulwe .

Sipiika wa Nansana kalungi n'omumyuka we Lukwago
wabaddewo embiranye mu bakkansala nga balonda sipiika waabwe era bano batwaliddwa mu kisenge ekitesebwamu ne bevumba akafubo okumala essawa ssatu okukakkana nga balonze Moses Kalungi Kasule (NRM) nga sipiika ne Rachael Lukwago(NUP) nga omumyuukawe nga bano beyamye okulwaniriira entesa ettambulira ku mateeka.