Amawulire

Bannaddiini basabiddwa okukozesa obutuuti babwe okulwanyisa akawuka ka mukenenya

BANNADIINI basabiddwa okukozesa obutuuti bwabwe mu masinzizo omuli amakanisa n'emizikiti okwongera okubunyisa enjiri y'okutangira okusasaana kwa kawuka ka siriimu saako okumalawo okusosola abo abazulwamu obulwadde buno    

Prof. Can. Gideon Byamugisha ng'ayogera eri bannaddiini
By: Kiragga Steven, Journalist @New Vision
BANNADIINI basabiddwa okukozesa obutuuti bwabwe mu masinzizo omuli amakanisa n'emizikiti okwongera okubunyisa enjiri y'okutangira okusasaana kwa kawuka ka siriimu saako okumalawo okusosola abo abazulwamu obulwadde buno.
 
Bano okuva mu nzikiriza ezenjawulo bakungaanidde e Nabweru okukubaganya ebirowoozo n'okwekubamu tooci ku buvunanyizibwa bwabwe okubunyisa enjiri y'okulwanyisa okusasaana kwa siriimu nga kunjiri y'ebye ggulu bbongereko ebintu ebikulakulanya obulamu bwa bagoberezi babwe.
Bannaddiini nga bakumye emisubbaawa okujjukira abantu abafudde akawuka ka mukenenya

Bannaddiini nga bakumye emisubbaawa okujjukira abantu abafudde akawuka ka mukenenya

 
Sheikh Rajab Kirya ow'ettwale lye Nabweru yasinzidde wano n'ategeeza nti singa bannadiini wakiri bafiisa eddakiika ttaano ne batuusa enjiri y'okumalawo siriimu omuli okukubiriza abagoberezi baabwe okujjumbira okwekebeza okumanya bwebayimiridde,okutandika eddagala eri abo abazuulwamu akawuka ssaako na batanafuna okwewala ebikolwa ebiyinza okubasuula mu katyabaga k'okufuna akawuka kano akasobola okwewalibwa.
Bannaddiini nga bakumye emisubbaawa okujjukira abantu abafudde akawuka ka mukenenya

Bannaddiini nga bakumye emisubbaawa okujjukira abantu abafudde akawuka ka mukenenya

 
Catherine Kiganda amyuuka pulezidenti wa mother's Union mu Bulabirizi bwe Namirembe yasabye amasinzizo gakoppe amasomero agatimba obubaka bwokwetangira siriimu mu compound  zaabwe nga kino kyakuyamba okujjukizza abantu obukulu bw'okwekebeza n'okulaba nga bayimirira na bo abazuulwamu akawuka nga bakola ebyo ebibayamba okumira eddagala lyabwe awatali kutya.
 
wano Pulof.Can.Gideon Byamugisha nga awangadde nakawuka ka siriimu emyaaka egyisoba mu 34 weyasinzidde nayambalira abantu abakyagenda mu maaso n'okusosola saako okusonga enywe mwabo ababeera bazuliddwamu akawuka kyokka nga na bamu kubenyigira mu kintu kino tebekebeza yadde okumanya webayimiridde.
Abamu ku bakulembeze ne bannaddiini nga bakuaganya ebirowoozo ku ngeri y'okulwanyisaamu akawuka ka mukenenya

Abamu ku bakulembeze ne bannaddiini nga bakuaganya ebirowoozo ku ngeri y'okulwanyisaamu akawuka ka mukenenya

 
yasabye gavumenti okwongera okutekawo kaweefube ayamba abantu abazuulwamu akawuka okwewagalira mu nsi navumiriira amateeka n'enkola erimu okukaka abantu abagala okufuna obufumbo okusooka okuwalirizibwa okuleeta ebivudde mu musaayi gwabwe nategeeze nti bangi basalawo kujjingirira ebiva mu musaayi kyokka nga wandibaddewo enkola eyemirembe eyagazisa abantu okumanyi amakulu gokwekebeza.