Amawulire

katikkiro Mayiga yeebazizza Ambasadda wa Uganda e German okubaaniriza obulungi

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye Omubaka wa Uganda mu Bugirimaani, Amb. Steven Mubiru n’abeebaza bulijjo okwaniriza obulungi Kabaka Mutebi II buli lwabeera agenzeeyo

Ambasada wa Uganda e German Amb. Steven Mubiru ng'ayaniriza Katikkiro Charles Peter Mayiga
By: Dickson Kulumba, Journalist @New Vision

KATIKKIRO wa Buganda Charles Peter Mayiga asisinkanye Omubaka wa Uganda mu Bugirimaani, Amb. Steven Mubiru n’abeebaza bulijjo okwaniriza obulungi Kabaka Mutebi II buli lwabeera agenzeeyo.

Mayiga era yeebazizza abakungu bano olw’okubaaniriza obulungi ku mulundi guno n’amutegeeza nga bwebazze okwetaba mu ttabamiruka w’abantu ba Buganda ababeera e Bulaaya.

Katikkiro Mayiga ne bannauganda abawangaalira e German

Katikkiro Mayiga ne bannauganda abawangaalira e German

Katikkiro Mayiga abadde ne Minisita avunanyizibwa ku bantu ba Buganda ababeera ebweru, Joseph Kawuki abulidde Amb. Mubiru ng’Obwakabaka bwe bulina enteekateeka z’okutumbula enkulakulana okuli enteekateeka y’okulima emmwaanyi ate n’okuzimba amayumba n’amusaba nti bwewabeerayo abantu abagetaaga babasindikire Obwakabaka.

Mayiga akubirizza Bannayuganda ababeera e Bugirimaani ne Bulaaya okutwalira awamu okwekwata emikisa egiri eyo ng’okusiga ensimbi mu butale bw’emigabo kubanga basobola okubufuna amagoba nkumu n’ebirala omuva ssente.

“Tukubiriza abantu baffe ababeera ebweru basige kuno ensimbi mu bintu ebizaala ssente olwo amagoba agabivaamu bazireete eka ate tukulakulanye eggwanga lyaffe,” Mayiga bwagambye.

Ye Amb. Mubiru yeebazizza Katikkiro Mayiga n’Obwakabaka okutwalira awamu olw’obujjanjabi bwe bawadde Kabaka nga kati ali mu mbeera esanyusa era n’alambulira Katikkiro enteekateeka ez’enjawulo zebalina mu kitundu kino okuli okutunda Uganda mu mawanga g’e Bulaaya.

Amb. Mubiru asanyukidde kaweefube w’Obwakabaka ow’okutumbula ekirime ky’emmwaanyi n’agamba nti Bugirimaani ekwata kifo kyakubiri mu nsi z’e Bulaaya ezigula emmwanayi za Uganda nga kati balubirira libeere eggwanga erisinga okugula emmwanayi za Uganda.

Katikkiro ng'ali ne Ambasada wa Uganda e German

Katikkiro ng'ali ne Ambasada wa Uganda e German

Abalala ababadde mu nsisinkano eno   Anthony Agama nga y'avunaanyizibwa ku byobusuubuzi ku kitebe kya Uganda e Bugirimaani, Jesca Namuddu atwala eby’obulambuzi, Augustine Kavule avunanyizibw aku by’ensimbi, Omumyuka wa Ambasada, Amb. Dan Mubiru.

Katikkiro Mayiga awerekeddwako Omubaka wa Kabaka mu kitundu kya Rhinelands Samuel Ssekajjugo, Omubaka wa Kabaka e Bungereza ne Ireland Geoffrey Kibuuka, Omubaka wa Kabaka mu bitundu bya Scandinavia Nelson Mugenyi, Omumyuka asooka owa Kaggo Ronald Mpagi, Omumyuka asooka owa Ssebwana Stephen Sseruyange n’abakungu abalala.

Ekitebe kya Uganda e Bugirimaani kitwala ensi 10 okuli; Bugirimaani, Poland, Austria, Hungary, Bulgaria, Ukraine, Vatican, Slovakia, Czech Republic, ne Romania.