Amawulire

Bbaasi ezitwalira 800/- ne data ow’obwereere zitandise

GAVUMENTI ekendeezezza ebisale ku bbaasi za KCCA ezikozesa amasannyalaze ze yaleeta mu kibuga okwongera okutereeza ebyentambula n’esaba abasaabaze bazijjumbire

Emu ku bbaasi ku luguudo mu Kampala.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

GAVUMENTI ekendeezezza ebisale ku bbaasi za KCCA ezikozesa amasannyalaze ze yaleeta mu kibuga okwongera okutereeza ebyentambula n’esaba abasaabaze bazijjumbire.
Ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ku bisale bino, kiraga nti, siteegi esooka etandikira ku 800/- ate esembayo okuba waggulu ya 1,500/-.
ENSENGEKA Y’EBISALE Okuva ku Constitutional Square okugenda e Nakawa 800/-, okugenda e Wandegeya 800/-, okutuuka e Ntinda 1,500/-, okutuuka e Bukoto 1,500/-. Okuva e Nakawa okugenda e Ntinda 800/-. Okuva e Bukoto okugenda e Ntinda 800/-.
Ebisale bino byagerekeddwa nga si bya kukyukakyuka era nga bye birina okukozesebwab obudde bwonna oba abasaabaze bangi oba batono. Omwogezi wa KCCA, Daniel Nuwe Abine yagambye nti, Gavumenti yatandika empeereza eno nga May 1, 2026 eri Bannakampala okubanguyiza n’okubatereereza entambula awatali kunyigirizibwa.
Yagambye nti, bbaasi zino zikoleddwa mu ggwanga aba kkampuni ya Gavumenti eya Kira Motors Ltd era ziyitibwa e-buses Express Service Ltd nga zonna zikozesa masannyalaze. Yagasseeko nti, mu nkola ey’omulembe n’okuweereza obulungi abasaabaze, bazitaddemu WIFI nga buli atambuliramu teyeetaaga kugula data asse ku ssimu ye, oluyingira mu bbaasi ng’essimu yeeyunga butereevu ku WIFI ya bbaasi, era ebbanga omusaabaze ly’amala mu bbaasi eno teyeetaaga kusasula data ku
ssimu ye aseereze. Nuwe Abine yategeezezza nti, okwongera okunnyikiza omutindo,
abaziddukanya tebakwata ku ssente, wabula buli kimu kitambulizibwa ku ssimu era n’ebisale kw’obisasulira. Yalaze nti, kkoodi okusasulirwa ssente zitimbiddwa mu bbaasi okusobola okwanguyiza abasaabaze.
Nga May 1, 2026, lwe zaatandika okukola, dayirekita wa Kampala, Hajjati Sharifah Buzeki yalangirira nti Gavumenti etaddewo bbaasi 8 era zaatandikirawo okusaabaza abantu kyokka zikyali ku luguudo lumu okuva ku Constitutional Square okugenda Nakawa okutuuka e Ntinda n’okukomawo e Bukoto, Kira Road, Kamwokya, Mulago ne Wandegeya.
Bbaasi zino tezisimba ku luguudo kuyita basaabaze wabula gw’esanga gw’etwala.Okutandika kwa bbaasi zino kwasattiza abattakisi ne bagamba nti, enguudo kwe zitandikidde kuliko ttakisi ezikolerako ekiyinza okuzitaataaganya ne zitafuna basaabaze.
Wabula Dan Nuwe Abine yagumizza abalina mmotoka endala kuba bagenda kukolera wamu nazo naye n’alabula nti, takisi ziganyegenya zaakugobwa ku nguudo. Wiiki ewedde, aba takisi baasisinkanye dayirekita wa KCCA ne bateesa ku ntambula ya bbaasi era ne bakkiriziganya nti, aba ttakisi tebagenda