Amawulire

Kansala Ssebuwufu ne Namazzi aba NUP bawangudde obwa Sipiika

KANSALA John Mary Ssebuwufu wa NUP yawangudde obwasipiika bwa kkanso ya KCCA mu kulonda okwabadde okw’ebbugumu n’alangirira nti, agenda kusitula omutindo gw’okuteesa mu kibuga

Ssebuufu ne Namazzi
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

KANSALA John Mary Ssebuwufu wa NUP yawangudde obwasipiika bwa kkanso ya KCCA mu kulonda okwabadde okw’ebbugumu n’alangirira nti, agenda kusitula omutindo gw’okuteesa mu kibuga.
Yalondeddwa ku Lwokuna mu lutuula olwabadde ku City Hall era Ssebuwufu yafunye obululu 18 ate owa NRM n’afuna 16 ate akalulu kamu ke kaafudde. Omulamuzi Ritah Naumbe Kidasa ye yalondesezza wakati w’okulung’amizibwa dayirekita wa Kampala Hajati Sharifah Buzeki. Ssebuwufu bwe yawangudde n’alangirira nti, ayagala buli ekiteesebwa kibeere ku mutindo n’agattako nti, tayagala kuddamu kuwulira ntalo mu KCCA ate ayagala abateesa abalina empisa n’obumanyi ku bintu bye bateesaako.
Yalangiridde nti, ayagala enkolagana ennungi wakati w’oludda olukozi lw’emirimu ne bannabyabufuzi era ayagala okukakasa nti, buli kkansala aweebwa ebiwandiiko ebimwetaagisa okuteesa obulungi mu kkanso.
Yagambye nti, agenda kukola nnyo okulaba nti, Bannakampala bafuna obuweereza obulungi awatali kunyigirizibwa muntu yenna mateeka mabi. Yategeezezza nti, ebiseera byonna bagendakubimalako nga bateesa ku nsonga za Bannakampala
Yalaze nti, ebizibu ebiruma Bannakampala abibaddemu era abimanyi bulungi okubisinga bonna ababirimu ekiseera kino era kkansala Godfrey Luyombya okuva e Nakawa eyaleese erinnya lye yamwogeddeko ng’ayise mu buli mutendera okulaba nti, atuuka ku ddaala eryo.
Sipiika Ssebuwufu yeeyogeddeko ng’ayise mu mitendera gy’ebyobufuzi egitendekeddwa obulungi era asuubira nti, agenda kuba sipiika asukkulumye ku basipiika bonna ababaddewo mu kkanso eyo kuba ayitidde mu mikono mingi egy’abakulembeze abalungi abamubangudde.
Ate Olive Namazzi naye owa NUP yalondeddwa ku bw’omumyuka wa sipiika bwe yafunye obululu 20 ate Nichorus Kwarija (NRM) n’afuna obululu 15. Ono n’abamu ku ba NRM baamulonze okusobola okusinza mu muwendo gwa bakansala ba NUP abali mu  kkanso.

KCCA erimu bakkansala ba NUP (19) nga ne Loodi Mmeeya Balimwezo omubaze ate aba NRM bali 16 era bonna ne bwe beegatta batya tebawangula ba NUP.  Olive Namazzi yeebazizza bakkansala okumuwagira n’alangirira nti, ebyobufuzi eby’okuvuganya biweddewo kati kiseera kya kukolera Bannakampala. Yagambye nti, tagenda kukkiriza mateeka mabi kuyisibwa nga gagenderedde kunyigiriza balonzi