ANITA Annet Among 52, ng'akyali fanfe wa Dr. Kizza Besigye kigambibwa nti yalina enkwatagana enneekusifu ne Pulezidenti Museveni ng’amubbirako ku pulaani z'aba FDC mu kiseera ekyo we kyabeerera ekibiina ky’oludda oluvuganya ekisinga amaanyi.
Enkwatagana eno kye kimu ku bintu ebyayamba ennyo Among eyakazibwako erya AAA okufuna amaanyi era wadde yali tanneegatta ku NRM mu butongole, ababaka bangi mu Palamenti ne bannabyabufuzi baali bakimanyi nti ewa Pulezidenti takonkona.
Bwe yeegatta ku NRM mu butongole mu 2020 n'avuganya ku kifo ky'omubaka omukazi owa Bukedea, Anita yalamulizaawo ekifo ky'omumyuka wa Sipiika wa Palamenti ey’e 11 wadde yali akyali mugenyi mu NRM mu 2021.
Mu maanyi ag’enjawulo, yatandikirawo kakuyege ow’amaanyi ng’akalulu ka 2021 kaakaggwa, era mu myezi ebiri gyokka yali afuuse mumanyifu mu matu g'ababaka ba Palamenti bangi abaali abapya.
Kigambibwa nti Among yakubiranga buli mubaka essimu emirundi egitakka wansi w’etaano olunaku, ng’ate n’akasente asindika ku ssimu kuba yategeera bulungi amaanyi ga ssente mu byobufuzi.
Waliwo ababaka abasajja abagamba nti, baamanya Among nga bayita mu bba Moses Hashim Magogo (Budiope East) eyasinziiranga mu bisaawe eby’enjawulo gye baakung’aaniranga buli ku makya okubamatiza enjiri ya Among.
Among yaggulawo enzigi z'amaka ge agasangibwa e Ntinda Ministers Village ne kifuuka ekifo ababaka we bawummulira mu Kampala nga balinda okulayira, okwo kwe yagatta embeera ze ezisembeza ennyo abantu, olwo n’ayongera okuganja.
Wadde nga Thomas Tayebwa (Ruhinda North era bwe baava ne Among mu FDC ) yeegwanyiza ekifo ky’omumyuka wa Sipiika era n’akola kakuyege ow’amaanyi, Among yamussa kasiiso era oluvannyuma Tayebwa yakakibwa okuva mu lwokaano.
Olunaku lw'okulonda bwe lwatuuka, Among yamenya mu jjenje kkalu bwe yamegga Yusuf Nsibambi FDC gwe yasimbawo. Among yafuna obululu 415, Nsibambi (kati eyeegasse ku NRM) n'afuna 37 ate Muhammad Nsereko ataalina kibiina yafuna obululu 24.

Asuman Basalirwa, (Bugiri munisipaali) ng’alina bye yeebuuza ku Among mu 2023.
AMONG AFUUKA ENSONGANga Palamenti ey’e 11 yaakatandika, Among yafuuka ensonga mu mwaka ogwasooka nga Palamenti agikubiriza emirundi mingi n’okusinga mukama we, Sipiika Jacob Oulanyah obulwadde obutaategeerekeka nga bumutawaanya.
Olw'obulwadde bwa Sipiika Oulanyah, Among yafuna omukisa okukubiriza akakiiko akasunsula abalondeddwa Pulezidenti omuli baminisita, abalamuzi, abakulira ebitongole by'okwerinda (ng’oggyeeko CDF) n'abakulira ebitongole eby’enkizo. Kino kyafuula Among omuganzi eri abantu abo be yayisa mu kakiiko okukakasibwa ku mirimu kuba buli mubaka eyali yeetegese okubalemesa, Among teyamuganya.
Okwongera okufuna amaanyi, Among yakozesa omukisa guno okuleeta ennongoosereza mu tteeka erifuga Palamenti erya Administration of Parliament Act, eryayanjulwa Anthony Akol (Kilak North) n’aweebwa obuyinza ng'omumyuka wa Sipiika okukubiriza enkiiko z’akakiiko akafuga Palamenti aka Parliamentary Commission.
Eyali Sipiika Jacob Oulanyah agenda okufa nga March 20, 2022, nga Among yeenywezezza ebitagambika. Emikisa gya Among okuddira mukamaawe mu bigere gyeyerula, abakugu mu mateeka bwe baataputa Ssemateeka ne bategeeza nti Palamenti erina okutuula bukubirire eronde Sipiika omuggya nga tennatuula kukungubagira Oulanya.
Nga March 25, 2022, Among yalondedwa ku bwa Sipiika ku bululu 401 ate Asuman Basalirwa (Bugiri Munisipaali) n’afuna 66. Kigambibwa nti Basalirwa ne Among baali mu ddiiru okufaanana ng'amuvuganya.
‘GANG OF 40’
Okufuuka Sipiika nga talina bumanyirivu, Among yakimanya nti ayolekedde olusozi gambalagala kuba n'omumyuka we Thomas Tayebwa, teyabulina wadde bombi balina diguli mu mateeka. Mu bukujjukujju bwe, yasembeza nnyo ababaka abagundiivu mu Palamenti okuli Medard Lubega Sseggona (Busiro East), Wilfred Nuwagaba (Ndorwa East), Asumani Basalirwa (Bugiri Munisipaali), Abdu Katuntu (Bugweri) ne Nathan Nandala Mafabi (Budadiri East) ne bamuyambako okumutaputira amateeka.
Yateekawo enkolagana etebangawo n’akulira oludda oluvuganya Gavumenti Mathias Mpuuga Nsamba n'okusembeza ab’oludda oluvuganya ab’enkizo nga Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira Munisipaali) abaafuuka abawabuzi be ku nsonga ez’enjawulo ekyamuyamba okunywerera mu ntebe.
Abadde omubaka wa Kagoma North, Brandon Kintu agamba nti Among yayongera okwenyweza ng’atondawo akakundi k'ababaka 40 abaaziniranga ku ntoli ze era nga bamukettera, okuwabula n’okukola misoni nga kaakazibwako, ‘Gang of 40.” era k’akozesezza okufuga mu myaka ena.
Okuzinsiira ku kunoonyereza kw’ebitongole by’okwerinda ebinoonyereza ku Among wansi w’ekikwekweto: ‘Maliza Ufisadi’, abababka abali mu ‘Gang of 40’ buli omu bamulinako ffayiro. Kigambibwa nti, ezimu ku misino za ‘ Gang of 40’, mubaddemu okuyigga n’okuggusa ddiiru za ssente mu Gavumenti, mu bitongole byayo n’ebweru w’eggwanga. Abamu babadde baddukanya bizinensi za Among omuli; ebibanda bya ssente, ebibanda ebituusa mmotoka ez’ebbeeyi ezibadde zigulibwa Palamenti n’ezimu ezibadde ziguzibwa ebitongole bya Gavumenti. Mu bano mwe muli abaafunira Among ettaka ne poloti ensava mu Kampala, ne Wakiso n’obwaguuka bw’ettaka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo n’okukunga ababaka okuyisaawo Among by’ayagala.
Kigambibwa nti mu ‘Gang of 40’ mulimu ate akabinja ak’omunda ddala akeeyita ‘Team Gumite’ ababadde tebava ku nnyonyi nga buli kadde be bafuna eng’endo ezijjirako obutitimbe bw’ensimbi. Bano be babadde beetikka ssente za Among okuzitereka ku akawunti ez’omu bbanga ez’ebweru mu mannya amakusifu era nga be bagula ebintu bye eby’ebbeeyi ennyo omuli engatto, engoye, essaawa n’ebyokwewunda. Era alina ne mikwano gye ebweru wa Palamenti b’abadde ayitamu okuyingiza mu ggwanga ebintu eby’omu nnyumba omuli ezibajje ne kalonda omulula ow’awaka.
AMONG ABADDE KAFULU MU KUKOZESA SSENTE OKUFUNA KY’AYAGALAYateekawo essuula empya mu Palamenti anti nga buli mubaka abeera n'omukolo mu kitundu kye, okumukwatirako asimbukira mu bukadde 10 kyokka ng’ab’enkizo gy’ali abayiwamu 100! Kuno kwali kuseeseetuka okw’amaanyi kuba Kadaga ne Oulanyah tebaasukkanga bukadde buna.
Okulonda bassentebe b'obukiiko bwa Palamenti ne bakamisona ba Palamenti, gwali gumanyiddwa nti mulimu gwa kibiina ekiri mu buyinza n’ekibiina ekisinga ababaka ku ludda oluwabula. Kyokka Sipiika Among yagweddiza nga y’asalawo ani akulembera kakiiko ki aka NRM, ekyamwongera amaanyi n’obuyinza.
Yakozesa amaanyi ge n’akkirizisa Pulezidenti Museveni okwongeza bakamisona ba Palamenti aba NRM ekisanja yadde nga kyali mu lwatu nti ababaka baali babakooye ng’era ababaka 180 baali bataddemu okusaba kwabwe okusikira Solomon Silwany, Esther Afoyocan ne Prossy Akampurira.
Among era yafuba okusembeza Pulezidenti Museveni, ekimuyambye okulinnyisa embalirira ya Palamenti n’eva mu buwumbi 600 n’omusobyo Kadaga we yagireka n’eyisa mu buwumbi