OLWAKUBYE ekirayiro ky’Obwaloodi Mmeeya wa Kampala, Ying. Ronald Balimwezo Nsubuga n’asuubiza okusitula omutindo gwa KCCA FC eddemu okuwangula ebikopo.
Balimwezo kati ye muyima wa KCCA FC, eyasikidde Erias Lukwaso ku kifo kya Loodi Mmeeya wa Kampala. Ng’amaze okulayira ku Lwokusatu, KCCA FC yatadde obubaka ku mukutu gwayo ogwa X (eyali twitter) ng’emuyozaayoza okutuuka ku buwanguzi n’okumwaniriza.
Oluvannyuma Balimwezo yayogeddeko ne Bukedde n’agamba nti olwokuba muwanguzi buli wabadde, ne KCCA FC emusuubiremu ebirungi bingi n’okuwangula ebikopo eby’enjawulo.
“Ng’enda kuwagira ttiimu eno mu buli kimu kuba njagala kuleetawo njawulo. Okugizimbira omusingi omunywevu ng’esobola okuwangula ebikopo ebiddiring’ana kuba obusobozi weebuli,” Balimwezo bwe yategeezezza n’agattako nti agenda kusisinkana buli avunaanyizibwa ku KCCA FC n’abazannyi okusala amagezi ku ngeri gy’egenda okusitulamu omutindo n’okutereeza ebikyalemye.
Yayongeddeko nti munnabyamizannyo ataliiko kabuuza kuba yaliko omuzannyi w’ebikonde ku mitendera egy’enjawulo. Yalabudde abazannyi abagayaavu nti ke kaseera bazuukuke kuba bafuna omusaala oguwera nga tewali nsonga ebalemesa kuzannyira ku mutindo guwangula bikopoKCCA yasemba okuwangula liigi ya babinywera mu 2018 wansi w’omutendesi Mike Mutebi. Sizoni eno, KCCA erwana kumalira mu kyakubiri.
“Tugenda kuteekawo akademi ennungi ng’esobola okuliikiriza ttiimu yaffe n’okuzuula ebitone kuba omupiira gwetaaga kuzimba kuva wansi,” Balimwezo bw’ayongerako.
Yannyonnyodde nti tagenda kukoma ku KCCA FC yokka, ne kiraabu zonna eziri wansi w’ekitongole ekyo, waakuziteekamu ggiya zituukane n’omutindo kuba emizannyo mikulu nnyo mu ggwanga.
“Ttiimu y’ebikonde njagala etuukane n’omutindo ogutwala abazannyi abasinga obungi ku ttiimu y’eggwanga kuba obusobozi weebuli. Ssaagala kuwulira muzannyi wa bikonde nti yeenyigidde mu bikolwa ebikyamu era omuzannyo guno ng’enda kuguteekamu amaanyi abazannyi bagweyagaliremu ng’ate bwe bafunamu ensimbi n’okutumbula ebitone byabwe”,.
Ku ttiimu y’okubaka, Balimwezo yagambye nti wadde ekola bulungi, erina okusingawo kuba ya njawulo nnyo ku ndala.
“Ttiimu zonna tulina okuziteerawo akademi zisobole okufunamu abazannyi n’okuzimba ebitone. Ekirala, tulina okutunuulira ennyo emizannyo okugizza ku masomero kuba weewali baamusaayimuto be tunoonya. Buli lw’oba ng’ozimba ekintu, olina kukitandikira wansi era kati essomero lya Kampala eritateeka ssira ku mizannyo tetugenda kulikkiriza,”.
Yagambye nti ku lw’okukulaakulanya emizannyo, tewali muntu agenda kuddamu kutunda kisaawe mu Kampala era abalina ekirowoozo ekyo balinde olutalo kakuuse.
“Buli kibangirizi kya KCCA tugenda kukola enteekateeka tukirongoose abantu baffe bafune omukisa okuzannyiramu emizannyo egy’enjawulo lwe tugenda okubakuuma nga beeyagalira mu kibuga kyabwe