Amawulire

Omuzungu bamututte mu kkooti lwa kucanga Bannayuganda babiri

OMUZUNGU ali mu kattu lwa kuleka mukazi we Munnayuganda mu America n’akomawo mu Uganda n’akuba Paasita omukazi embaga nga tasoose kugattululwa mu mateeka ne mukazi we gw’alinamu abaana 4.

Gregg ng’amema n’omugole omupya Nampijja.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

OMUZUNGU ali mu kattu lwa kuleka mukazi we Munnayuganda mu America n’akomawo mu Uganda n’akuba Paasita omukazi embaga nga tasoose kugattululwa mu mateeka ne mukazi we gw’alinamu abaana 4.
Omuzungu Joshua Gregg bamututte mu kkooti ya famire nga mukyala we Racheal Kalule Gregg amuvunaana okukola obufumbo obupya n’omukazi omulala Dorah Nampijja omu ku Bapaasita b’ekkanisa eya Amazing Grace Ministries Church e Masanafu mu Kampala.

egg ne Rachael nga gukyabasaza mu kabu.

egg ne Rachael nga gukyabasaza mu kabu.


Rachael ng’alina obutuuze bwa America ye yakubye bba Omumerika Gregg mu mbuga z’amateeka ng’amulumiriza okubaligira mu bufumbo bwabwe. Omukyala agamba nti, baasisinkana mu 2011 mu lukung’aana lw’ekkanisa mu disitulikiti y’e Kiboga gy’azaalwa.
“Twasiimagana ne tukola omukolo gw’okukyala, okwanjula ssaako embaga nga March 17, 2012 e Kiboga,” Rachael bwe yagambye, n’agattako nti, nga amaze okugattibwa mu Uganda, baasitula ne boolekera America mu Ssaza lya Indiana, Gregg gy’azaalibwa era ne bagattibwa mu bufumbo obutambulira ku mateeka ga America. Yagambye nti, amaze ne bba emyaka 14 mu bufumbo nga balina abaana bana wabula ng’abasatu be baben ng’omukulu ow’emyaka 15 yamusangawo.
Ababe kuliko ow’emyaka 13, 11 n’asembayo ow’emyaka omwenda. Nga abafumbo, agamba nti, bazze babeera n’obutakkaanya kyokka nga babumaliriza bulungi, wabula ekya bba okubaligira mu bufumbo kyamukubye wala nga y’ensonga lwaki yeekubidde
enduulu mu mbuga z’amateeka.
Alumiriza bba okukola omukolo gw’okukyala ew’omukyala omulala amanyiddwa ngan Dorah Nampijja ng’ono mubuulizi wa njiri mu kkanisa ya Amazing Grace Ministries  sangibwa e Masanafu. Kigambibwa nti, olw’okuba Nampijja muweereza mu buweereza bwa FBi AFRICAFirm Believers in Christ eyigiriza okubuulira enjiri ng’ekkanisa zonna ziri wansi w’Omusumba Steven Kyambadde owa Amazing Grace Chapel Missions Church esangibwa e Ntebe.
Alumiriza bba okusisinkana Nampijja mu 2016, bba bwe yali azze mu Uganda ku  lugendo lw’okubuulira enjiri ng’ebiseera ebyo omukyala ono yali muyambi mu maka g’omu ku mikwano gya bba era awo naye we yamumanyira. Agamba nti, yakwatagana
n’omukyala ono mu 2018 ng’amuyisa nga muwala we era nga n’omukyala amuyita maama wabula mu 2020, yatandika okwekengera enkolagana ya bba ne Nampijja kyokka bwe yagezaako okumubuuza, n’abyegaana.
Mu bbanga eryob okutuusiza ddala mu 2023, bba yawuliziganyanga n’omukyala ono
ng’amusabira kyokka essaala ez’eddakiika zaatandika okuvaamu emboozi ez’omukwano era wano we yamanyira nti, Nampijja yafuuka dda omusumba awedde emirimu mu kkanisa yaabwe.
Obutakkaanya bwabwe ne bba bweyongera bwe yamugaana okubaako kyonna ky’akola
ng’amugamba nga bw’ajja okufunayo omukyala omwetegefu okulabirira amaka nga takola. Wadde nga yasooka n’abigondera, yatuuka ekiseera n’asalawo atandike okwekolera nga bba ensimbi ezisinga azisindika Kampala okulabirira abaana b’omukyala ono ng’amugamba nga bw’ayamba bakateeyamba ne mulekwa.


Ensonga nga zikutte wansi ne waggulu mu 2024, yazitwala mu bakulu b’ekkanisa ng’ali wamu ne bba ne Nampijja kyokka omwami n’ayongera okubyegaana ng’agamba enkolagana yaabwe ne Nampijja ekoma mu buweereza bwa kkanisa.
Ng’ensonga zaabwe zongedde okulinnya enkandaggo, omwami yamuggulako omusango mu America ng’ayagala aggyibweko abaana nga tamanyi. Bino olwamugwa mu matu naye kwe kussaayo okusaba mu kkooti za Amerika okwawukana ng’okusaba kuno yakukola mu January wa 2025. Embeera ya bba okwogerezeganya n’omukyala ono buli
kiro mu maka gaabwe yamuggya awaka n’atandika okwepangisiriza n’abaana be mu America.
Mu July w’omwaka oguwedde, alumiriza bba okukyusa amannya okuva ku Gregg Cunningham n’adda ku Gregg Joshua n’akomawo mu Uganda n’akola omukolo gw’okukyala ewa Nampijja nga July 11 omwaka oguwedde.
Mu October w’omwaka gwe gumu, yakomawo mu maka ge n’aggyayo n’omusango gw’okugattululwa era wano bba we yakamutemera nga bwe yali agenda okuwasa omukyala omulala. Teyakoma ku kumutegeeza, wabula yamubikkulira n’ekyama ky’omukyala okuba nga yali lubuto lwa myezi etaano nga lwa mwana muwala.
Rachael agamba nti, ensonga yaziroopa eri abakulira ebibiina ebitwala enzikiriza z’Abalokole eby’enjawulo okuli ekya North Kampala Pastors Fellowship ekikulirwa Godfrey Katende n’ekirala ekya Rubaga District National Fellowship f Born Again Pentecostal Churches ekikulirwa Bishop Teo Mpiima ne bagezaako okuyingir mu nsonga zaabwe kyokka zaabalema ne bamuwa amagezi yeekubire enduulu mu b’obuyinza.
Ensonga Rachael yazongeddeyo mu kkooti n’aggulawo omusango gw’okugezaako okutandika obufumbo obulala ate ng’akyali mufumbo ng’avunaana bba n’omukyala Nampijja. Omusango nnamba 0144/ 2026 (Rachael Kalule Greg vs Joshua David Greg and Dorah Nampijja).
Omusango gwakutandika okuwulirwa enkya ku Lwokubiri nga May 26, 2026, Rachael alumiriza nti, embeera eno emumazeeko mirembe wamu n’abaana be nga kati ayagala kkooti y’eba eramula omukyala ono ne bba olw’embeera ye bamuyisizzaamu. Bwe yabuuziddwa oba mwetegefu okwawukana ne bba, yategeezezza nti, si mwetegefu wabula singa omusajja aba akisabye, Mukama bw’atyo bw’anaaba amugeredde.
OMUZUNGU AYOGEDDE
Bukedde bwe yatuukiridde omusumba Gregg, yakakasizza nga bwe balina obutakkaanya ne mukyala we nga bwava ku kubanti, omukyala ono yasuulirira obuvunaanyizibwa bwe ng’omukyala omufumbo mu November wab 2024, era okuva olwo tewali kyali kikyuse.
Amulumiriza okuteekayo okusaba bagattululwe mu January w’omwaka oguwedde kyokka yatuuka ekiseera ne yeekuba n’aggyayo okusaba okwawukana mu October
w’omwaka gwe gumu. Gregg agamba okusinziira ku byawandiikibwa, omuntu bw’akulekawo oba n’akusindiikiriza okumuviira, aba ng’ayawukanye naawe. Agamba nti, omukyala ono abadde amulaba nga gwe yayawukana naye edda nga kati ensonyi yazifuula obusungu alage nti, ye mutuufu. Amulumirizza okugezaako okumubonereza olw’okwagala okufuna omubeezi omulala. Akkirizza ng’omusango bw’agumanyiiko
era bwe yalagidde balooya be, okuteekayo okwewozaako kwe.