MUNTEEKATEEKA y'okwongera okutereza ebyobulamu mu ggwanga , edwaliro lya Gavumenti elijjanjaba endwadde z'abaani enkakali elimanyibwa nga Surgical Hospital litandise enteekateeka yokutendeka abasawo okuva mumatendekero agawaggulu era nga basoose ne Mbarara University wamu ne Makerere University.
Enteekateeka Eno ekulembedwamu Dr Giacomo Menaldo akulira eddwaliro lya Children Surgical Hospital wamu ne Kitongole kye byobulamu ekikikiribwa Dr Charles Olaro nga Ono agambye nti basazeewo okwenyigira munteekateeka eno kubanga yakuyamba okufuna abasawo b'abaana abakugu mu ggwanga era nti baagala amatendekero amalala okufuna omukisa guno kubanga gwabwerere .

Asso.Prof we Makerere University Bruce Kirenga nga akwasibwa ebbaluwa okuva ewa Giacomo Menaldo akulira eddwaliro lya Children's Surgical Hospital e Ntebe ekakasa enkolagana etandikibwawo okutendeka abayizi.
Dr Giacomo Menaldo akulira eddwaliro lya Children Surgical Hospital agambye nti baasalawo okussaawo enteekateeka Eno okusobola okutendeka bannayuganda abasawo okuva mumatendekero ga Uganda ne wabwelu kisobole okuyamba okwongera okufuna abakugu mukujjajaba abaana endwadde enkakali .
Agenze mu maaso n'ategeeza nti basobodde okujjanjaba abaana okuva mu mawanga agenjawuulo okuli South Sudan, Ethiopia, Chad wamu Sierra Leon era abaana abasoba mu 6,500 basobodde okulongosebwa endwadde ezamanyi okuva mu mwaka 2021 edwaliro lino welyagulibwaawo ate nebatendeka abasawo okuva mumawanga okuli South Sudan, Burundi wamu ne Kenya naye nti bakyagenda mumaaso okutendeka abalala .

Giacomo Menaldo akulira eddwaliro lya Children's Surgical Hospital wamu ne Ass.Prof okuva e Makerere Bruce Kirenga nga bateeka omukono ku ndagano ekakasa enkolagana etandikibwawo okutendeka abayizi
Amyuuka akulira Mbarara University Prof Pauline Byakika Kibwika agambye nti enkolagana eno nungi nnyo kubanga egenda kuyamba okusawo enkalagana enungi wakati wa Children's Surgical Hospital wamu ne tendekero lye Mbarara kwosa nokuyamba okufulumya abayizi abakugu ennyo munsonga zabaana .
Kulwa Makerere University College of Health Sciences Professor Bruce Kirenga agambye nti basanyufu nnyo olwenkolagana eno nagamba nti nungi nnyo era bagala okugikuuma abayizi babwe abasawo basobole okufunamu ate ne Gwanga awamu liganyulwe nga bafuna abasawo abakuguse mundwadde zabaana