OBUTAKKAANYA bubaluseewo mu kika ky’Obutiko nga bawakanya Ggunju omupya, Henry Namutete Mugwanya eyatuuziddwa ku ntebe y’Owaakasolya.
Namutete yatuuziddwa ku ntebe e Busujju nga May 9, 2026 kyokka abamu ku b’ekika baawakanyizza emikolo n’obukulembeze bwe ne bawandiika ebbaluwa nga beekubira enduulu mu Bwakabaka. Emikolo gino gyakulembeddwa Ham Kiwanuka Gambizzi owooluggya ne Henry Ssemugonda.
Gambizzi bwe yabuuziddwa ku nsonga eno, yagambye nti ye nga jjajja w’ekika atuuza Ggunju, guno omukolo ateekwa okugukola kasita aba nga gw’agukolako mutuufu. N’atangaaza nti, Namutete ava mu lunyiriri lwe lumu n’olw’omugenzi Kibaya.
Minisita w’obuwangwa, Anthonny Wamala yagambye nti, minisitule gy’akulembera tesala misango gya bika. Yagambye nti, bano bakyalina omwagaanya gw’okukkaanya kyokka bwe birema, waakubasindika mu kkooti ya Kisekwa.
Ssemugonda nga naye omu ku baakoze emikolo e Busujju yagambye nti, gwe baataddeko yalondebwa aboolunyiriri omuva Ggunju era ne kkooti ya Kisekwa mu nsala eyawa Kibaya enkizo, yabalagira batuule beerondemu Owaakasolya, nabo kye baakola.
ENDOOLIITO ZIRUDDE
Bazze batuuza enkiiko era olwatudde e Lubaga mu maka ga James Musiitwa Kajugujwe, abazzukulu 40 be bazze. Kuno kwe kwabadde n’abaana ba Ssaalongo Kibaya Musoke eyawaabira Matia Kawere abadde Ggunju. Kkooti ya Kisekwa yasalawo nti Kibaya omusango yagusinga kyokka n’afa mu 2022 nga tannatuuzibwa.
Olukiiko lwetabiddwaamu abataka b’amasiga mukaaga ku munaana okutambulirwa ekika, abeemituba, abennyiriri n’abazzukulu mu kika. Lwakubiriziddwa ssentebe w’abaamasiga James Musiitwa eyakuutidde Aboobutiko okukomya enjawukana kuba zikonzibizza enkulaakulana mu kika.
Ezimu ku nsonga kwe beesigama okusimbira Namutete ekkuuli mulimu eky’obutaba mutabani wa Kibaya kkooti ya Kisekwa gwe yabala nga Ggunju. Era bagamba nti, ennambika y’ekika ku kutuuza omutaka ng’abaddeko afudde, enkizo y’okulya Obwaggunju esoosa ku baana b’oyo abadde ku ntebe.
Baagambye nti, ku baamasiga omunaana agakola ekika kino, omu ye yali ku mukolo, kye baayogeddeko nga ekyoleka nti omukolo gwakolebwa mu kimpukumpuku.
Musiitwa yagambye nti, eno ensonga ya kika eyandiggweeredde mu nnyumba yaabwe nga tezze na Mmengo ssinga abaakola omukolo baasooka kutuula ne bakkaanya ku atuuzibwa. N’agamba nti, si beetegefu kulandiza nsonga eno kugisussa Mmengo kuba baagala babe bumu ate kino kiyinza okubatemamu.