EBYAVUDDE mu kukebera abagambibwa okubeera abaana b'omugenzi Paulo Job Kafeere bikomyewo, obunkenke ne bweyongedde mu baana ne bamaama baabwe nga beetegekera okubibanjulira wiiki eno.
Minisita Balaam Barugahara yategezezza Bukedde eggulo nti enteekateeka zonna ziwedde okwanjula ebyavudde mu DNA era nti abaana bonna, bamaama baabwe n'aba ffamire bayitiddwa ku kitebe kya Poliisi e Naggulu ku Lwokuna lwa wiiki eno (June 25) ku ssaawa 5:00 e’zokumakya babakwase ebyavudde mu musaayi.
Abubaker Nende muto w’omugenzi Kafeero yasoose kutegeeza nga bbo aba ffamire bwe beteeseteese okufuna ebinaava mu musaayi era tebasuubirayo mwana oba maama yenna kuwakanyabinasomebwa kuba enteekateeka zonna zikoleddwako bakugu ate n’omusaayi gwakebereddwa okuva mu bifo bibiri ebyenjawulo.
“Twasabye nti nga tebanaba kutukwasa byavuddeyo, kumakya omukolo gutandike na kubudabuddibwa kw’abaana ne bamaama basobole okukiriza ebinaaba bivuddeyo kuba kino ekijja si muntu. Kyokka njagala okukumya buli muntu nti tetusuubira mbeera yonna kuccanga byazuliddwa ate nga n’ekisinga obukulu omusaayi gwakebereddwa mu bifo bibiri okuli ekifo kya Gavumenti e Wandegeya n’ekya Poliisi e Naggulu.” Nende bwe yakatirizza.
Ono oluvannyuma yategezezza nti amangu ddala nga bamaze okukakasa abaana ba Kafeero abatuufu, bagenda kuddukira mu kkooti bagisabe okusazaamu abo bonna abaguzibwa n’okutwala emmaali y’omugenzi mu kye bayita obumenyi bw’amateeka.
“Njagala okulabula buli muntu alina ekintu kya Kafeero nti ye ssaawa akikomyewo eri abaana b’omugenzu abatuufu be bagenda okutwanjulira. Ne bwe kiba nti abakuguza be bamu kw’abo abanaaba bakakasiddwa, olw’okuba nti bonna tebakiriziganya, wagula mu bukyamu,” Nende bwe yalabudde.
Ono yawadde eky’okulabirako eky’amaka ga Kafeero ag’e Kajjansi agatundibwa n’ennyumba y’e Namuwongo mu Kampala mwe yasuuzanga abakubi b’ebivuga.
Ku ttaaka ly’omu kyalo e Nkokonjeru mu disitulikiti y’e Buikwe, Nende agamba nti ku yiika 27 omugenzi ze yaleka, wasigaddewo yiika emu okuli ekijja era ne lino balina okulinunula.