OMUVUBUKA agambibwa okulabikira mu vidiyo ng'emulaga okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka ne banne abalala, akwatiddwa poliisi y'e Banda.

Wafula eyakwatiddwa
Poliisi era erabudde abantu okwewala okukola obutambi obusikiriza abantu okwenyigira mu bumenyi bw'amateeka n'okwewala obwo obulaga okutwalira amateeka mu ngalo.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire agambye nti bayigga n'abalala abaalabikidde mu katambi kano.