Amawulire

Bannayuganda abaagobwa e South Africa batuuka nkya ku Lwakusatu

Omubaka wa Uganda e South Africa, Paul Amoru yategeezezza nti buli kimu kiwedde era ekibinja ekisooka kituuka Lwakusatu.

Bannayuganda abaagobwa e South Africa batuuka nkya ku Lwakusatu
By: Hannington Nkalubo, Journalist @New Vision

BANNAYUGANDA 771 be balindiridde okukomezebwawo kuno okuva e South Africa era ebifo we bakung'aanidde bayiyeewo abaserikale okutangira okubakolako obulabe.

 

Omubaka wa Uganda e South Africa, Paul Amoru yategeezezza nti buli kimu kiwedde era ekibinja ekisooka kituuka Lwakusatu.

Abamu ku bagwira abalinze okuddizibwa ewaabwe.

Abamu ku bagwira abalinze okuddizibwa ewaabwe.

Yagambye nti Gavumenti ya South Africa ebawadde abaserikale abeebulungudde ebifo we bakung'aanidde okulaba nti tewali abatuusaako bulabe.

 

Bakung'aanidde mu bifo bisatu okuli; essaza lya Gauteng n’ebitundu ebyetooloddewo nga bano bagenda kukozesa kisaawe kya Olive Thambo National Airport okubaggyayo era ku Ssande baabadde bawandiise 607 abeetegese okuzzibwa kuno.

 

Ekifo ekirala kiyitibwa Western Cape Town nga kino bagenda kukozesa kisaawe kya Cape Town International Airport, ate ekyokusatu kya King Shark International Airport ekigenda okuyamba abakolera mu bifo nga Kwazuru Natal n’ebitundu ebiriranyeewo.

 

Paul Amoru yagambye nti obuvunaanyizibwa bw'okubakuuma buli mu Gavumenti ya South Africa era Gavumenti yawaddeyo obukuumi. Yagambye nti abamu ku beetegese okudda baweebwa olukusa olubasobozesa okugenda ku bisaawe by’ennyonyi era abamu babategeezezza okwewala ebifo eby'obulabe.

 

Bannansi ba South Africa baatandika dda okugoba abantu abava mu nsi endala nga bakolera mu ggwanga lyabwe n’okusingira ddala abatalina biwandiiko. Ebikwekweto bye bakola Gavumenti ya South Africa ezze ebivumirira.
 

Abeekalakaasi baawadde nga June 30, 2026 nga buli atalina biwandiiko avudde mu nsi yaabwe era abakulembeze mu mawanga mangi bazze babivumirira.

 

Wiiki ewedde, omu ku Bannayuganda yaggyiddwaako pikipiki gye yabadde akolerako ne bamukuba bubi ne bamuta. Kino Kyavumiriddwa Gavumenti ya Uganda era esabye lipooti entongole ku Munnayuganda ono.

 

Abalina ebiwandiiko n’abali mu bifo ebitali bya bulabe nnyo baakusigalayo era ambasada Amoru yagambye nti Bannayuganda abali e South Africa basoba mu mitwalo 50.

Tags:
South Africa
Kugoba
Bantu