POLIISI e Kasese, ekutte abantu babiri abagambibwa okuteega omukyala ne bamukuba ennyondo ne bamunyagako ebintu.
Abakwatiddwa , kuliko muganzi we Khasim Kasaija 37 ne Habibu Amanyire 40 nga bombi batuuze b'e Kasunganyaja mu disitulikiti y'e Bunyangabo.
Kigambibwa nti bamukubye ennyondo mu luba olwa kkono nga bagezaako okumubbako ebintu kyokka n'akuba enduulu, baliraanwa ne bamuduukirira ne babakwata.
Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East , Elly Maate, agambye nti bano bombi, bakuumirwa ku poliisi enkulu e Kasese nga baakutwalibwa mu kkooti ku misango gy'okugezaako okubbisa eryanyi n'okutuusa obuvune ku muntu.