ABADDE omukung’aanya ow’oku ntikko owa kkampuni ya Vision Group okumala emyaka 16, Barbara Kaija asiibudde mu butongole n’asibirira bannamawulire entanda.

Barbara n'omwami we Kaija nga babasabira essala ebasiibula.
Abasabye okweyambisa obulungi tekinologiya omupya (AI) okwongera ku bukugu bwabwe awatali kukosa mutindo gwa mirimu gyabwe.
Abasabye bulijjo okwewala kyekubiira nga bakola omulimu gwabwe n’okukuuma omukululo gw’alese.

Osike abadde amyuka Kaija ng'amwogerako eggulo.
Yeebazizza Pulezidenti Museveni olw’okubateerawo embeera emikutu gya mawulire okukukula n’okukola emirimu.
Kaija awadde bannamawulire amagezi bulijjo okukola emirimu gyabwe nga basanyuka, okuyambagana n’okusanyukirako bannaabwe ababeera balina bye batuuseeko.

Kaija ng'agabula abakozi ba Vision Group kkeeki gye yasaze
Yeebazizza Katonda n’abantu bonna abamuyambe mu buweereza bwe okuli bakozi banne, ffamire nga mu ngeri ey’enjawulo yasiimye nnyo Maureen Balayo, Mackline Kwikiriza, n’abadde ddereeva we Milton Mwesigwa.
Akulira kkampuni ya Vision Group, Don Wanyama asiimye Kaija olw’etoffaali ly’agasse ku Vision Group mu lugendo lwe olw’emyaka 34, era n’amusaba okusigala nga bawabula.

Abamu ku beemikwano ne ffamire ya Kaija abaabaddewo.
Omumyuka we, Felix Osike amwogeddeko ng’abadde omukugu mu by’akola, omwesimbu, era ayambye nnyo Vision Group okukula ne tekinologiya omupya nga bo abakozi bamutenderezza mu ngeri ez’enjawulo.
Oluvannyuma Kaija ng’aliwamu ne fafmire ye n’abakulira kkampuni ya Vision Group basaze kkeeki emusiibula.