Amawulire

Basse omukuumi omulambo ne bagusuula kumpi ne w'abadde akolera!

Ettemu, libadde Bwenanula cell mu Muhokya town Council e Kasese, ku luguudo lwa Ishaka - Bushenyi highway, abazigu bwe basse Naziru Akansinguza 35, omulambo gwe ne bagusuula mu kinnya emabega w'ekizimbe kya Hotel ya Power Dealers Co. Ltd.

Basse omukuumi omulambo ne bagusuula kumpi ne w'abadde akolera!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu abatannamanyika, basse omukuumi, omulambo gwe ne bagusuula mu kinnya kya kazambi mu kifo w'abadde akuuma.

Ettemu, libadde Bwenanula cell mu Muhokya town Council e Kasese, ku luguudo lwa Ishaka - Bushenyi highway, abazigu bwe basse Naziru Akansinguza 35, omulambo gwe ne bagusuula mu kinnya emabega w'ekizimbe kya Hotel ya Power Dealers Co. Ltd.

Kigambibwa nti yattiddwa wakati wa July 01 ne July 04, era mukama we Sarah Tuhaisomwe ng'abeera Mbarara, ategeezezza nti amaze ennaku ng'amukubira essimu takwata, kwe kugendayo leero, n'asanga nga baamusse ng'omulambo guli mu kinnya kya kazambi n'atemya ku poliisi ya Muhokya.

Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East, Elly Maate, agambye nti baguggyeeyo, ne bagutwala mu ggwanika ly'eddwaaliro lya Kasese munisipaali Health Center iv okugwekebejja, ng'okubuuliriza, bwe kukolebwa.

Tags:
Ttemu
Kutta
Mukuumi
Mulambo
Kukola