Amawulire

Poliisi eyigga omukazi atuze bbebi omulambo n'aguleka mu ntebe za Klezia!

Bibadde Kiwamirembe e Kajjansi mu disitulikiti y'e Wakiso, omukazi ow'ettima bw'atuze omwana omulenzi n'amuzinga mu bugoye, n'amuleka ng'amuzazise mu ntebe , omulambo n'agusuula mu kawooteeri k'eKlezia mu kifo ekyo.

Poliisi eyigga omukazi atuze bbebi omulambo n'aguleka mu ntebe za Klezia!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

POLIISI enoonya omuntu ow'ettima, atuze omwana ow'emyaka ebiri, omulambo gwe n'aguleka mu ntebe z'e Klezia.

Bibadde Kiwamirembe e Kajjansi mu disitulikiti y'e Wakiso, omukazi ow'ettima bw'atuze omwana omulenzi n'amuzinga mu bugoye, n'amuleka ng'amuzazise mu ntebe , omulambo n'agusuula mu kawooteeri k'eKlezia mu kifo ekyo.

Kigambibwa nti omulambo gw'omwana, gubaddeko enkwagulo mu bulago nga kirowoozebwa nti abaamusse , basoose kumutuga n'afa.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti okusinziira mu kubuuliriza , omulambo gwalekeddwawo mukazi eyasoose okulya emmere, nti bwe yafulumye, teyakomyewo era nga mu kiseera kino,  gukuumirwa  mu ggwanika ly'eddwaaliro e Mulago ng'okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Klezia
Bbay
Ntebe