Amawulire

Abatuuze be baasaayidde emmere bali mu maziga

Ebitooke, muwogo, kasooli n’ebirime ebirala eby’emmere byonna byasaayiddwa biri ku ttaka omuli n’ebitooke ebibadde bissizzaako amatooke. Bino bibadde ku kyalo Ndeeba mu Kayunga town council mu disitulikiti y’e Kayunga.

Abatuuze be baasaayidde emmere bali mu maziga
By: Saul Wokulira, Journalist @New Vision

Abatuuze bali mu maziga bwe baakedde ne basanga ng’emmere yaabwe esaayiddwa.

Ebitooke, muwogo, kasooli n’ebirime ebirala eby’emmere byonna byasaayiddwa biri ku ttaka omuli n’ebitooke ebibadde bissizzaako amatooke. Bino bibadde ku kyalo Ndeeba mu Kayunga town council mu disitulikiti y’e Kayunga.

Betty Babirye, nnamwandu wa Edward Nakabaale Bisaso omu ku bannannyini mmere eyasaayiddwa kino akitadde ku nkaayana za ttaka era nga waliwo abantu abaludde nga babeesimbyemu okubagoba mu ttaka lino kwe bawangaalidde emyaka n’ebisiibo.

Babirye agambye nti bba Nakabaale yamulekera bamulekwa kyokka tamanyi kyakubaliisa kubanga emmere yaabwe esaayiddwa.

Agambye nti bwakya lumu ne basanga ekitundu ku kibanja nga kisibiddwako olukomera era awo amaloboozi we gaatandikira nga gabalaalika nti ettaka lyatundibwa ne lisalibwa poloti abantu ab’enjawulo ne bazigula.

 Twogeddeko ne Agaba Bruce omu ku be balumiriza okugula ekifo kino n’agamba nti kituufu yagula ekifo ku ttaka eryogerwako wabula si ye yasaaye emmere y’abantu.

RDC w’e Kayunga, Jimmy Nsimbi Mugwanya, ajjukizza abantu amateeka agafuga enkolagana y’oweekibanja n’ow’ettaka era nti tewali muntu akkirizibwa kugoba mulala ku kibanja n’asuubiza nti ensonga zino ofiisi ye egenda kwongera okuzeetegereza.

Tags:
Saul WOkulira
Maziga
Kusaawa
Batuuze
Mmere