GAVUMENTI ekakasizza bw’egenda okuzimba eddwaaliro ly’emitima eddene mu kibuga Jinja oluvannyuma lw’okufuna yiika z’ ettaka 5 okussaako pulojekiti eno.
Dr. Yayi yagambye nti, abaana 5, abaasigalidde baakulongoosebwa mu bwangu ddala e Mulago ku bwereere. Yagambye nti, olusiisira luno lwe lukyasinze okulongoosebwamu abalwadde b’ emitima abangi nga lwamaze wiiki nnamba n’abasawo abakugu 20 okuva e Kampala n’abalala 40 okuva e Jinja.
Omumyuka w’akulira Uganda Heart Institute, Dr. Peter Lwabi yat¬egeezezza nti, amalwaliro g’emitima amalala gagenda okuzimbibwa e Mbarara ne Lira okwongera okutuu¬sa obujjanjabi okumpi n’abantu mu bitundu byabwe.