ABAKULEMBEZE ba Mbale City, abasomesa n’abayizi okuva mu yunivasite 5 basabye Gavumenti okubayamba nga batuuse mu kugenda okubangulwa mu makolero (Industrial Training) kuba bakaluubirizibwa nnyo mu masomo g’okugezesebwa.
Omumyuka wa Lord Mmeeya wa Mbale City, Abdulaziiz Sharafu yagambye nti, omukisa gwe bafunye baakulaba nga bagukozesa kuba abayizi bangi abasoma obwayinginiya n’ebyemikono ebirala bwe batuuka ku Internship babadde badaaga ekisusse.
Yasabye Gavumenti okubakwatirako ng’ebawa obuyambi bayimirizeewo pulogulaamu eno.
Akulira entambuza y’emirimu mu Sino Uganda Mbale Industrial Park, Laurent Zhang yagambye nti, balinawo amakolero 85 nga mu kiseera kino balina abakozi 14,000 nga balina ebifo awabangulirwa abayizi 1,200 kwe kusalawo okuwa Bannayuganda omukisa babangulwe naddala abasoma obwayinginiya n’ebyemikono.
Agamba nti, nga bannamakolero, basanga okusoomoozebwa bwe kituuka ku muwendo gw’abakozi abakugu kuba bangi bajja n’empapula z’obwayinginiya naye nga baakoma ku kusoma mu kibiina.
Omumyuka w’akulira IUIU, Siraji Mukhwana yasiimye bannamakolero kye bakoze n’agamba nti, baali baakassaawo kkoosi ya bayinginiya kyokka bafunye omukisa aw’okubatwala mu kiseera ky’okubangulwa. Yasabye Gavumenti okubakwatizaako ku bayizi bano.