Abantu babiri abagambibwa okulumba amaka e Mukono ne babba pisito, obukadde 10 ne ttivvi 3, bakwatiddwa.
Obubbi buno, bwabaddewo nga July 1 mu Upper Nabuti e Mukono, ababbi bwe baalimbye omukozi w'awaka nti boss yabadde abatumye ttivvi okugitwala bagikanike naye ne babba ttivi 3, ssente n'emmundu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, agambye nti emmundu eno omuli amasasi 17 , bagizudde n'ebimu ku bintu ebyabadde bibbiddwa era ng'omuyiggo gw'abalala, gukolebwa.