ABAKUNGUBAZI obukadde 10 be bali mu bikujjuko by’okuziika omukambwe wa Iran, Ayatollah Ali Khamenei.
Leero omulambo gutuuka mu Iraq gye gulindiriddwa nnamungi w’omuntu asimbye ennyiriri ku makubo, ku mizikiti gye bamutwala era enguudo ezituukayo zaakwatiridde dda abakungubazi.

Ekifaananyi Kya Ayatollah Kye Baakozesezza Okukuma Olumbe Lwe
Mu bifo bya Iraq ebitukuvu mu bibuga okuli; Najaf, Karbala n’ebirala gye batwala omulambo, abakungubazi bagulinze nga mbaga ku makya ga leero.
Gugenda kutuukira ku kisaawe kya Najaf International Airport, abateesiteesi baguyise mu bantu nga guli mu mmotoka nga bwe bawuuba bendera okuli eya Iran n’eya Iraq.
Bwe gunaggyibwa eyo akawungeezi, gugenda kuziikibwa ku kaalo Mashhad gye bamuzaala mu Iran enkeera ku Lwokuna ku muzikiti gwa Imam Reza ogw’ebyafaayo era we yasomera eddiini okusinziira ku mawulire ga Al Jazeera.

Enkumi n'enkumi z'abantu abaakungubaze.
Ekikyewuunyisa abakungubazi n’amawanga nga Yisirayiri agatta Ayatollah oyo ng’olutalo lwa Iran ne America lutandika mu February w’omwaka guno, y’ensonga lwaki mutabaniwe Mojtaba Khamenei eyamuddira mu bigere tannalabikako mu bikujjuko bino.
Kiteeberezebwa nti Yisirayiri eyagala kumulabako emulondoole okutuuka okumutemula. Bwe kiba si kyo, ekakase oba ddala awenyera nga bwe bigambibwa nti bbomu ezatta kitaawe naye zaamutemako amagulu n’enjala teyasigaza ku ngalo.
Wabula abatunuulizi bagamba nti engeri okuziika gye kuli kwa kyama, ayinza okuba nga alinze kitaawe aziikibwe olwo alyoke alabike. Bwe kitabeera kyo, ng’emikolo egigye yamala dda okugikola ku by’okuziika kitaawe.