Amawulire

Bannayuganda 1130 be baanunudde e South Africa bali Kyankwanzi mu kubudaabudibwa

EGGULO ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi (ku Lwokusatu), Gavumenti yanunudde Bannayuganda  1,130 mu ggwanga lya South Africa nga bano ebakimiddeyo mu bibinja  wabula minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru Haruna Kasolo ategeezezza nti Bannayuganda abaagala okugenda mu ggwanga lino nga balina ebiwandiiko baddembe.

Bannayuganda 1130 be baanunudde e South Africa bali Kyankwanzi mu kubudaabudibwa
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

EGGULO ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi (ku Lwokusatu), Gavumenti yanunudde Bannayuganda  1,130 mu ggwanga lya South Africa nga bano ebakimiddeyo mu bibinja  wabula minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru Haruna Kasolo ategeezezza nti Bannayuganda abaagala okugenda mu ggwanga lino nga balina ebiwandiiko baddembe.

 

Abadde  mu lutuula lwa palamenti olwaleero olukubiriziddwa omumyuka wa sipiika, Thomas Tayebwa ng’awa sitatimenti ku mbeera ya Bannayuganda ababadde bawangaalira mu ggwanga lya S.Africa n’abo abaggyibwayo

 

Kiddiridde ekitongole ekirwanyisa abo ababeera mu ggwanga lya S. Africa mu bumenyi bw’amateeka (March and March Group) okuwa nsalessale abo abaaliyo nga tebalina biwandiiko okwamuka eggwanga lyabwe obutasukka June, 30 nga n’ekyaddirira bwali bulumbaganyi na kuboonoonera bintu

 

Kino kyawaliriza pulezidenti Museveni okulagira minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga ,  Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja, minisitule y’ebyentambula wamu n’omuduumizi w’amagye okukakasa nga Bannayuganda abaaliyo banunulibwa

 

Minisita Kasolo yagambye nti ekibinja kya Bannayuganda ekirala kya bantu 250 kyatuuse eggulo ku ssaawa 12:00 ez’akawungeezi era ku Lwokubiri Bannayuganda 880 be baabadde baakaggyibwayo.

 

Bannayuganda bano yagambye nti ekyabaviiriddeko okugobebwa mu ggwanga lino nga tebeesiikidde kanyeebwa kwe kuba nga babaddeyo mu bumenyi bw’amateeka awatali kiwandiiko kibawa lukusa.

 

Yayongeddeko nti ababadde beetegese okugenda e South Africa bagende mu maaso, kubanga  ekikolwa ekyakoleddwa kinyiga abo baddugavu abatalina  biwandiiko era n’ategeeza nti , gavumenti ya S.Africa  si y’eri emabega w’ebikolwa bino ekyawuniikirizza ababaka.

 

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru ow’ekisiikirize Susan Joan Alobo (Soroti City)  yasiimye Gavumenti okudduukirira Bannayuganda oluvannyuma n’agisoomooza  ennyonnyole lwaki buli ekibinja ekituuka kitwalibwa Kyankwanzi.

 

Agambye nti ab’enganda z’abantu bano tebamanyi kigenda mu maaso era tebabalabangako nga badiyagadde okumanya ensonga ebakuumisa e Kyankwanzi

 

Mu kwanukula, Kasolo annyonnyodde nti baazuula nga abantu bano balina okwennyika mu birowoozo nga beetaaga okubudaabudibwa so nga nabo baasaba okusooka okusisinkana pulezidenti Museveni nga tebannasisinkana bantu baabwe.

Tags:
Kyankwazi
Pulezidenti Museveni
South Africa
Kasolo Haruna