Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, eweema y’obujulizi, yategeezezza nga July 9 nti ekibiina ky’obwannakyewa ekirwanirira eddembe ly’obuntu ekya CAP LC, Coordination des Associations et Particuliers pour la Liberté de Conscience, kyawaddeyo ekiwandiiko eky’awamu eri olukiiko lw’amawanga amagatte olulwanirira eddembe ly’obuntu (U.N. Human Rights Council) nga kiraga obweraliikirivu olw’enjawukana n’okweyawulayawula mu bammemba b’ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus.
Mu kiwandiiko kyabwe, aba CAP LC balaga newankubadde nga waliwo enjawukana n’obubuubaga n’obutakkaanya mu kkanisa ya Shincheonji Church of Jesus, eyo teyalibadde nsonga nnyo wabula essira balitadde ku ndowooza enkyamu n’obujulizi obujweteke obutondeddwawo mu South Korea eri abakkiriza ba Shincheonji Church of Jesus, nga bino singa bisaasaanyizibwa ebweru w’eggwanga, tebijja kukoma ku kya kukyusa ndowooza z’abakkiriza mu mawanga amalala wabula n’okukosa enkola y’emirimu gyabwe.
Mu kiwandiiko kye kimu, aba Shincheonji Church of Jesus baategeezezza nti singa enjawukana n'okulumirizibwa okutaliiko bujulizi binaagobererwa ku mutendera gw'ensi yonna, n'ebibiina by'eddiini entonotono biyinza okusalirwa omusango mu ngeri y'emu, sinakindi amawanga amalala okutwala embeera eno ng’eky’okulabirako.
CAP LC, ekitongole ky'obwannakyewa ekirina olukusa olw'enjawulo obw'okwebuuza ku Lukiiko lw'Omukago gw'Amawanga Amagatte oluvunaanyizibwa ku by'Enfuna n'Embeera z'Abantu (ECOSOC), kimanyiddwa olw’okutumbula ensonga ezikwata ku ddembe ly'eddiini.
Shincheonji Church of Jesus yategeezezza nti ekitongole ky’obwannakyewa nga CAP LC ekyetongodde okuvaayo ne bafulumya ekiwandiiko ku nsonga eno, kyeraga lwatu nti ensonga ekwata ku kkanisa eno tekyali ya munda mu South Korea mwokka, wabula ekwata ku nsi yonna mu kaweefube okweyweza eddembe ly'obuntu.
Ekiwandiiko kya CAP LC era kiwa eky’okulabirako ky’emisango egyaliwo mu Bungereza ne Girimaani, nga abaayo balina endowooza enkyamu eri abakkiriza ba Shincheonji Church of Jesus.
Mu Bungereza, Ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa ebibiina eby'obwannakyewa (Charity Commission) kyagaana okuwandiisa Shincheonji Church of Jesus, nga kijuliza nti kidiinidiini “cult” (ekibiina ky'eddiini ekitunuulirwa ng'ekikyamu), ekigambo ekitannaba na makulu gategeerekeka bulungi mu mateeka.
CAP LC yagambye nti okukozesa ebigambo ng'ebyo mu nkola entongole ez'eby'obukulembeze awatali musingi gwa mateeka omweyolefu, kiyinza okwongera okuggyawo ekitiibwa eri abo abakwatibwako n'okuleetera abantu okulowooza nti Shincheonji kidiinidiini, ekintu ekisiga enjawukano n’obukyayi.
Okunyoonyereza kwa CAP LC era kulaga nti mu Girimaani n’amawanga amalala agoogera Olugirimaani, waliwo alipoota eziraga engeri bammemba ba Shincheonji Church of Jesus gye baaloza ku busosoze mu bifo gye bakakkalabiza emirimu gyabwe, olwa kalebule eyasaasaanyizibwa mu bantu ng’ava ku mawulire agafulumizibwa ku mikutu egitali gimu gattako n'ebigambo ebyogerwa abakulembeze b’amadiini mu ngeri y’okuvvoola ekkanisa eno.

Ekiwandiiko kya CAP LC
Ekitongole ky’obwannakyeewa kino era kyayongeddeko nti okusinziira ku kitabo ekyafulumizibwa mu 2025, abantu abeeyita abalwanirizi b'enjigiriza y'Abavanjiri (evangelical activists) kyayongera okuggumiza n’okunyweza endowooza ez'obusosoze n'okutunuulira obubi ekkanisa eno wamu n’abagoberezi baayo.
Ekkanisa erumiriza okusosolebwa
Shincheonji Church of Jesus yategeezezza nti emisango egy’ekikula kino tegyakomye bukomi ku kussaaawo luwonko na njawukana wabula n'okusaasaanya ebigambo ebitannakakasibwa, ebivuddeko bammemba baayo okuboolebwa mu bifo gye bakolera emirimu, mu maka gattako n’obulamu bwabwe obw'awamu n'abantu abalala okudobonkana.
Ne basaba nti amawanga ag’enjawulo gasaanye okwesigamya ennamula yaago nga bagoberera obujulizi obukakafu.
CAP LC enokoddeyo okutyoboola kw’eddembe oluvannyuma lw’omukulembeze w’ekkanisa eno okuggalirwa
Ekiwandiiko kino era kyayolesezza obutakkaanya obuli mu South Korea ku nsonga y'okwenyigira mu byobufuzi. CAP LC yanenya eky’abakkiriza ba Shincheonji Church of Jesus okulangibwa okwetaba by'obufuzi. Bagamba nti omuntu okwetaba mu byobufuzi tekifuula nzikiriza ye oba eddiini ye okuba enkyamu.
Nga yeesigama ku nsonga eyo, CAP LC yasabye gavumenti ya South Korea okunywerera ku kukuuma eddembe ly’eddiini, n’enkola y’obutali busosoze mu madiini.
Mu mbeera eno, gavumenti ya South Korea ekyagenda mu maaso n’okunoonyereza ku bammemba ba Shincheonji Church of Jesus.
Nga June 24, kkooti yawa ekiragiro ky’okukwata Ssentebe Lee Man-hee olw’okweraliikirira nti obujulizi buyinza okusangulwa n’ebirala. Nga 29, June, ekitebe ky’okunoonyereza ekigatta ebitongole bya Gavumenti kyamuvunaana okuvvoola n’okumenya etteeka erifuga ebibiina by’obufuzi.
Wadde ng'okusalawo ku misango egivunaanibwa kunaakolebwa oluvannyuma lw’enkola y’okuwulira omusango mu kkooti, aba Shincheonji Church of Jesus bagamba nti ensonga y’okusosolwa mu ddiini nayo erina okutunuulirwa nga basinziira ku mateeka ag’obwenkanya n’obujulizi obw’amazima, so si ku ndowooza z’abantu oba obutakkaanya obw’ebyobufuzi.
Ekkanisa ya Shincheonji Church of Jesus yategeezezza nti ensonga eno ekwatagana n’obweraliikirivu ekitongole ky’obwannakyewa ekya CAP LC kye yayogerako mu kiwandiiko kyayo.