Amawulire

Abadde yeeyita muwala wa Museveni ku Tiktok n'anyaga abantu poliisi emukutte!

Kino kiddiridde poliisi n'amagye, okukola ebikwekweto mwe bazze bakwatira abavubuka ababadde beeyita ‘muwala w'omukulembeze w'eggwanga, Natasha Karugire ku mikutu emigattabantu, ne banyaga ssente okuva mu bantu.

Abadde yeeyita muwala wa Museveni ku Tiktok n'anyaga abantu poliisi emukutte!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omuvubuka omulala agambibwa okwefuula ky'atali n'anyaga abantu, naye akwatiddwa e Iganga.

Kino kiddiridde poliisi n'amagye, okukola ebikwekweto mwe bazze bakwatira abavubuka ababadde beeyita ‘muwala w'omukulembeze w'eggwanga, Natasha Karugire ku mikutu emigattabantu, ne banyaga ssente okuva mu bantu.

Akwatiddwa, ye Ali Kisimbira 22 omutuuze w'e Nampirika mu muluka gw'e Bukaya mu ggombolola y'e Nakalama e Iganga, nga kigambibwa nti abadde yaggulawo akaawunti ku TikTok mu mannya ga Haji Yasin Foundation n'anyaga abantu.

Mu kumwaza, kigambibwa nti bamusanze n'essimu ekika kya Samsung A05 nga mulimu akawunti za TikTok 8 z’agambibwa okweyambisa okunyaga abantu .

Ku zino, kuliko eya Ssentongo yasin 46, Sengasarahhonunylil, Sengasarah294, Nammeerejustine7, Natashakarugire6, n'endala.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East Micheal Kasadha, agambye nti akuumirwa ku poliisi e Iganga, ng'omuyiggo gw'abalala, gukolebwa.

Tags:
TIKTOK
Kunyaga
Bantu
Museveni
Muwala
Poliisi