Amawulire

Poliisi ekutte 3 ku by'okubba ente e Ssembabule ne bazitunda e Kyengera

Abakwatiddwa, kuliko Steven Kamukama 52, Amons Katongole 32, ne Patrick Musinguzi 44 bonna nga babeera Sembabule. Ddereeva adduse era naye bamuyigga.

Poliisi ekutte 3 ku by'okubba ente e Ssembabule ne bazitunda e Kyengera
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Abantu basatu abagambibwa okubba ente okuva e Sembabule, bakwatiddwa poliisi nga bazitunda e Kyengera.

Abakwatiddwa, kuliko Steven Kamukama 52, Amons Katongole 32, ne Patrick Musinguzi 44 bonna nga babeera Sembabule. Ddereeva adduse era naye bamuyigga.

Babakwatidde mu lufula e Kyengera n'ente 8 ezigambibwa okuba nga babadde bazibbye okuva mu kiraalo kya Charles Mulindwa  mu ggombolola ya Mutima mu disitulikiti y'e Sembabule .

Babadde bazitambuliza mu canter nnamba UBQ 181U era abaddukanya Lufula e Kyengera gye babadde bazitutte okuzitunda, be batemezza ku poliisi n'ebakwata nga balina pamiti enjingirire.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire agambye nti okubuuliriza kukolebwa.

Tags:
Kyengera
Kubba
Nte
Poliisi
Kukwata
Kutunda
Ssembabule